Abatuuze e Ndejje basse omubbi
Jun 17, 2025
ABAZIGU ab’emmundu balumbye amaka g’omutuuze ne bamubbako ssente okukkakkana ng’abatuuze babataayizza ne battako omu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
ABAZIGU ab’emmundu balumbye amaka g’omutuuze ne bamubbako ssente okukkakkana ng’abatuuze babataayizza ne battako omu.
Obulumbyaganyi bwabadde Ndejje- Mirimu mu Munisipaali y’e Makindye-Ssaabagabo abazigu ab’emmundu bwe baalumbye amaka ga Christine Nalwadda okukkakkana nga ssente ezisoba mu kakadde kamu n’ekitundu bazitutte.
Yakubye enduulu abatuuze ne bavaayo ne bakuba omu ku bo okutuusa lwe yafudde. Abazigu baabadde n’ejjambiya n’emmundu bbiri, n’emmotoka ya Noah nnamba UBQ729T. Eyattiddwa teyasangiddwa na biwandiiko bimwogerako.
Aduumira poliisi y’e Katwe David Kamugira, yategeezezza nti, okusinziira ku mmotoka ssaako n’emmundu ebyasangiddwa mu kitundu kino bagenda kunoonyereza oba bikwatagana n’ettemu eryali mu Kanaaba-Lunnya.
Kamugira yategeezezza nti, baasindise dda bambega ba poliisi okulaba nga banoonya Kato agambibwa okudduka era nga bwe banaamukwata agenda kuvunaanibwa.
No Comment