KCCA erabudde bannakibuga ku mmere n’ebyokunywa
Jun 18, 2025
EKITONGOLE kya KCCA kirabudde abantu mu Kampala ku mmere n’ebyokunywa bye bettanira kubanga bingi bitegekebwa mu bifo bicaafu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
EKITONGOLE kya KCCA kirabudde abantu mu Kampala ku mmere n’ebyokunywa bye bettanira kubanga bingi bitegekebwa mu bifo bicaafu.
Akulira KCCA, Hajati Sharifa Buzeki wiiki ewedde yalambudde zooni ya Soweto awafumbirwa emmere mu katale ka St. Balikuddembe n’alabula Bannakampala nti
nga tebannagula mmere eyo ebawoomera, bateekeddwa okumanya gye bagifumbidde okulaba oba wayonjo ekimala.
“Bwe mutumya emmere musooke mumanye gye bagifumbidde mukakase nga wayonjo era abagifumbye balabika batya? Bagoberera amateeka g’ebyobuyonjo kuba KCCA erina ebifo ebyassibwawo okufumba emmere nga kyakolebwa okulwanyisa endwadde eziva ku bucaafu,” Hajati Buzeki bwe yategeezezza.
Yagambye nti buli afumba emmere oba okutunda ebyokulya alina okuba nga abisse ku nviiri, alina ettaawo era nga ne w’akolera wayonjo era nga wakkirizibwa.
Yategeezezza nti KCCA erina ebifo bye yakkiriza okufumbiramu emmere era birambulwa buli lunaku okulaba nga wayonjo.
Okugeza mu katale ka St. Balikuddembe, zzooni ya Soweto mwe mufumbirwa emmere, era aba KCCA baalambuddeyo okulaba embeera mwe bakolera.
Akulira ebyobulamu mu KCCA,, Dr. Sarah Zalwango yagambye nti ekivaako abantu okukwatibwa endwadde naddala eziva ku bucaafu nga ekiddukano, kwe kulya emmere n’ebintu ebirala nga tebamanyi gye babifumbidde.
Yagambye nti waliwo abafumbira mu buveera n’obudeeya ebitakkirizibwa, okufumbira awacaafu, abatunda ebibala okubiteeka mu mifulejje n’emyala nga baagala binnyogoge okukkakkana nga birwazizza ababirya.
Yategeezezza nti buli muntu atunda emmere alina okusooka okwekebejjebwa
abasawo ba KCCA, balina okubikka ku nviiri, okwambala amataawo, okunaaba mu ngalo, okuwa bakasitoma emmere eyokya, okwewala okwetakula
nga bwe bakwata ku byokulya,okuyonja we bakolera n’ebirala.
Yagasseeko nti mu katale ka St. Balikuddembe KCCA esobodde okukuuma obuyonjo ng’etwala kasasiro mu budde nga buli lunaku etwala loole 5.
No Comment