MU nzikiriza ez’enjawulo mu ggwanga naddala ey’Abakatoliki n’Abakristaayo, bakkiriza abaagala okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ng’omu tasoose kukyuusa nzikiriza ye oba eddiini ye.
Okugeza, omusajja Omukatoliki bw’afuna omukazi Omukristaayo, tekibeetaagisa kusooka omu kuva mu ddiini ye okudda mu y’omulala okusobola okugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Buli omu asobola okusigala mu ddiini ye ate ne bagattibwa.
Kyokka ne bwe kutaba kugattibwa, abantu bangi bali mu maka nga si bafumbo ba mpeta oba abawoowe mu Busiraamu era nga baawula eddiini. Osanga omukazi omulokole ate ng’afumbiddwa omusajja Musiraamu n’obufumbo obulala obugwa mu kkowe eryo.
Okusoomoozebwa okutera okubaawo mu maka agali mu mbeera bwetyo, kujja mu nkuza y’abaana. Abamu bakaluubirirwa okulondako ku ddiini abaana gye baba bakuliramu. Kyokkaolumu ne bwe baba basazeewo nti, omwana atwale ya maama oba taata, ate okubakuza nga bannyikidde mu nzikiriza eyo nakyo kikalubamu olw’ensonga nti, omuzadde omu y’aba agigoberera ate ng’omulala agoberera ndala.
Wano abakugu mu nsonga z’obufumbo we balambikidde ku birina okukolebwa okulaba ng’abaana abali mu maka agafaanana bwegati bakula nga banyweevu mu ddiini yaabwe
KAKASA NG’OYIGA EBITANDIKIRWAKO MU DDIINI ABAANA BO GYE BAGOBEREDDE
Rev. Canon Simon Sibonana okuva mu kkanisa y’Abakristaayo eya St. Johns e Kamwokya : Mu mbeera ng’eddiini naddala Abakatoliki n’Abakristaayo bakkirizibwa okufumbiriganwa, abaana eddiini gye banaatwala mulina okugikkaanyaako mu ddembe.
Kyokka bwe mukkiriziganya nti, abaana bagende mu ddiini ya maama oba taata, ggwe gwe batagenze mu ddiini yo kikukakatako okubaako by’oyiga ku ddiini abaana bo gye bagenzeemu.
Olina okuyiga ezimu ku ssaala ze basoma, ebikulu bye bakkiririzaamu, amannya oba ebitiibwa ebiweebwa abakulembeze b’eddiini yaabwe n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Ebyo bw’obiyiga oba ojja kuyambako muzadde munno ku mulimu gw’okuyigiriza abaana bammwe eddiini.
Singa ggwe atutte abaana obeera munafu, basobola okusalawo ne bagenda mu ddiini y’omuzadde gwe balaba ajjumbira. Olwo ne basigaza mmanya ga ddiini yo naye ng’ebikolwa bakola bya ddiini ndala era nga gye bagoberera.
Kyokka tulina okujjukira nti, Katonda gwe tuweereza ali omu, tufube ffenna okukoppa empisa ennungi tuziteeke mu baana baffe basobole okukula nga bamumanyi era nga bakola by’ayagala