Abavubuka abakunukkiriza mu 200 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi

Abavubuka abakunukkiriza mu 200 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi n'amagye mu Kampala, Wakiso ne Mukono.

Abavubuka abakunukkiriza mu 200 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Magye #Bikwekweto

Abavubuka abakunukkiriza mu 200 be bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi n'amagye mu Kampala, Wakiso ne Mukono.

Kigambibwa nti abamu babasanze n'enjaga, ebiso, ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba ne kalonda omulala era bakuumirwa ku poliisi e Mukono, CPS Kampala ne Nansana ku misango egyenjawulo. 

Mu kikwekweto ekikoleddwa e Namuyenje, Nabuti ne Bajjo e Mukono, bayoddeyo 24 era nga bano bakuumirwa ku poliisi e Seeta ne Mukono. 

Ewa Kisekka, Old taxi park, Nakasero ne Kampala Rd, bakutte 167  nga kigambibwa nti bano befuula abalonda obucupa ne babba n'okutulugunya abantu. 

E Nansana bayoddeyo 11 n'enjaga wamu n'ebintu ebiwerako era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti bano baludde nga babba bakuba n'okuteega abatambuze ne babatulugunya.