OMUKAMBWE wa Iran, Ayatollah Ali Hossein Khamenei awadde amagye ekiragiro okuwanika ku kalabba buli yenna eyakolaganye n'eyayambye ku Yisiyariri mu ngeri yonna omuli n'abaawulidde oba abaategedde ku lulumba lwe yakoze nga June 13 n'etta bagenero 30.
Mu lulumba luno, Iran yafiiriddwa ne bannassaayansi 14 ekyakoleezezza olutalo olwakamala ennaku 12. Ekiragiro kino Ayatollah yakiwadde omuduumizi w'amagye ow'oku ntikko Gen. Abdolrahim Mousavi, gwe yaakalonda okudda mu bigere Mohammad Bagheri eyatemuddwa Yisirayiri.
Gen. Mousavi yabuulidde Ayatollah nti abantu abasoba mu 700 be baakakwatibwa ku bigambibwa nti babadde bakettera Yisirayiri nga bakolagana n'ekitongole kyayo ekikessi ekya Mossad.
Olwavudde ewa Ayatollah, ekiragiro n’akiteerawo mu nkola n’atugako basatu bwe yabawanise ku kalabba. Kino kyazze waakayita olunaku lumu bukya America, Iran ne Yisirayiri zirangirira nga bwe zissizza wansi ebyokulwanyisa ziteeseganye.
Abakwate babalumiriza okukolagana ne Yisirayiri nga babakettera n’okubakukusiza ebyokulwanyisa ebyeyambisibwa okutemula bannamagye ne bannassayansi.
EBY’OKUKUBA NUKIRIYIRA WA
IRAN BIRIMU AMATANKANE
Iran esekera mu kikonde bw’etegeezezza nti bbomu America ze yagisuddemu ng’eruubirira okusaanyaawo ebifo byabwe mwe baweeseza nukuliya, zaakosezza ku ngulu wokka era tewali kinene kye zaayonoonye.
Abeebyokwerinda mu Iran baategeezezza nti baalemesa ebiruubirirwa bya Yisirayiri bye baabalumbirako mu nnaku 12 ze baamaze nga balwanagana.
Bagamba Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu yategeeza nti baalumba n’ebigendererwa bibiri ng’ekimu kya kusaanyaawo ebifo bya nukuliya n’okuggyako obukulembeze bwa Islamic Revolutionary Guard Corps (IRGC).
Kyokka Iran egamba nti wadde America yakubye enfo zaayo ssatu eza nukuliya okuli; Fordo, Natanzne Esfahan era Trump ne yeewaana, bamusekeredde kuba talina kinene kye yabakosezza.
Balumiriza nti enfo zaabwe baazikolera wansi mu ttaka ne bateekako tekinologiya ow’omulembe okuzeetooloola. Tewali bbomu yonna esobola kuzisaanyaawo era bbomu za America, zaakosezza bya kungulu nga kijja kubatwalira emyezi mitono okubizzaawo.
Bbomu za America eza Massive Ordnance Penetrator bagamba zokka ze zisobola okutuuka ku nfo za nukiriya. Balumiriza nti okubalumba bwe kitaagudde bugwi era ebimu ku bintu byabwe eby’omuwendo, baabadde bamaze okubitegula okubissa mu bifo ebirala mu kiseera bbomu za America we zaakubidde ku Lwomukaaga.
Olutalo lwennyini bagamba lwayongedde kubagatta ng’enjawukana ze babadde nazo baazisibye ku mpagi era mu kiseera kino, balwanirira nsi yaabwe. Kyokka America yasambazze ebyogerwa Iran n’egamba nti obuzibu bwa bbomu zaayo ezizitowa 30,000 lb tewali ngeri gye zaabadde ziyinza kuleka kifo kyonna nga tekisesebEbya
Amerika
okusaanyaawo
nukiriyira wa
Iran bibuzaabuza
buddwa.
Ensonda ku kitebe kya Pentagon zaategeezezza amawulire ga CNN nti abawakanya obusobozi bwa America babitaddemu ebyobufuzi n’ekigendererwa ky’okunafuya Pulezidenti Donald Trump okumulaga nga omunafu.
“Buli muntu amanyi ekibaawo ng’osudde bbomu 14 ez’obuzito bwa 30,000 ‘pound bombs’ ku bifo byennyini by’oyagala, tewali kiyinza kusigalawo,” omwogezi wa Pentagon, Karoline Leavitt bwe yagambye.
YISIRAYIRI NE IRAN BAKYAJAGANYA
Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu yatenderezza Pulezidenti Trump olw’okubakubira Iran n’agamba nti kye yakoze kijja kubeerawo emyaka n’ebisiibo.
“Yisirayiri tebeerangako na mukwano asinga Trump ng’ali mu White House.
Singa tetwasitukiddemu, twabadde twolekedde akatyabaga k’okusaanyizibwawo,” Netanyahu bwe yategeezezza. Abantu baayisizza ebivvulu mu kibuga Tel Aviv nga balaga okusiima kwabwe eri Gavumenti n’eggye ly’eggwanga olw’obulumbaganyi bwe baakoze ku Iran bwe baagambye nti baafunyeemu nnyo.
Kyokka ne Pulezidenti wa Iran, Masoud Pezeshkian naye yalangiridde nga mu lutalo lw’ennaku 12 bwe bavuddeyo n’obuwanguzi.
Bannansi ba Iran nabo baajaganyizza nga beekulisa obulumbaganyi bwa America ne Yisirayiri nga bwe bawaga nti, “Kasajja katono okanyoomera mitala wa mugga.” Bannansi abamu bakira bawaga nti, “America ne Yisirayiri bukya balya myungu, leero balidde butanga kuba ffe tuli ba njawulo nnyo tusobola okulwanyisa buli yenna atulumbagana.”
Bwe yabadde asitula okuva mu America, Trump yategeezezza bannamawulire nga bw’ataabadde musanyu ne Yisirayiri eyagenze mu maaso n’okusuula bbomu ku Iran ze yagambye nti abadde tazirabangako wadde nga baabadde bamaze okukkiriziganya okussa wansi ebyokulwanyisa.
“Siri musanyufu eri amawanga gombi erya Iran ne Yisirayiri, kuba ziri ensi bbiri ezibadde zirwanagana nga tezimanyi kye zikola…” Trump bwe yagambyeIran yategeezezza nga bwe yabadde efiiriddwa abantu 610 nga kuliko abaana 13 okuva Yisirayiri lwe yabalumba ate Yisirayiri yaakafiirwa 28.
TRUMP ALAALISE OKUKUBA IRAN
Wabula Trump alaalise okudda Iran mu biwundu singa kanaagitanda n’eddamu okukola nukiriya. Yabyogeredde mu kibuga Hague ekya Netherlands gye yagenze okwetaba mu lukiiko lw’omukago ogugatta amawanga ga Bulaaya ne North America ogwa NATO.
Trump yabadde ayanukula bannamawulire abaamubuuzizza ebikwata ku bbomu, America ze yasuula e Fordo mu Iran, oluvannyuma lw’ebiyiting’ana nti tezirina kye zaakosa.
“Singa Iran eddamu okukola nukiriya, tujja kuddamu okubasesebbula. Kye mmanyi ekifo kyonna kyasaanyeewo kuba bwe tumala okukuba tulina abatuukayo ne bakakasa nti omulimu gutambudde bulungi,” Trump bwe yagambye.
Trump yageraageranyizza bbomu ze yakubye ku za Japan ekyakomya ssematalo owookubiri n’agamba nti singa tebaakikola ne kati bandibadde bakyalwana