Aba Owino ‘bataayizza’ KCCA mu kkooti

ABASUUBUZI ba St. Balikuddembe bongedde okutaayiza KCCA mu kkooti ku musango gw’obwannannyini bw’akatale.

Aba Owino ‘bataayizza’ KCCA mu kkootiAba kkootiBakaaba
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASUUBUZI ba St. Balikuddembe bongedde okutaayiza KCCA mu kkooti ku musango gw’obwannannyini bw’akatale.
Kkooti eragidde KCCA egitwalire olukalala lw’amannya g’abasuubuzi lwe yawandiisa balwetegereze. Ekiragiro kino kyafulumiziddwa kkooti ya Twed nga kiriko omukono gw’omulamuzi Acellam Collins ku Mmande nga July 7, 2025.
Kiddiridde abasuubuzi 30 aba kkampuni ya SSLOA mwe baayita okugula ettaka ly’akatale ako ku KCCA okugiwaabira okukabaggyako n’etandika n’okuwandiika abasuubuzi yo b’emanyi.
Abasuubuzi abamu baabaddeyo mu kkooti ng’omulamuzi awa ekiragiro. Bannamateeka b’abasuubuzi; Majda Atulinda ne Swabrah Kasayi be baasabye omulamuzi ku lw’abasuubuzi baabwe nti nga tebannagenda wala na musango baagala balabe ku lukalala lw’amannya KCCA lwe yawandiika.
KCCA yakiikiriddwa Munnamateeka Dennis Byaruhanga. Kkooti yayimiriza KCCA okuwandiika basuubuzi mu katale ng’abagiwaabidde beemulugunya nti abaawandiikibwa si be bannannyini abatuufu.
Omulamuzi yalagidde nti olukalala lw’amannya olulagiddwa KCCA okuwaayo lwelwo olwakoma nga May 26, 2025. Ekiragiro kya kkooti kyasanyudde abasuubuzi ne bategeeza nti ako akatale baakagula ku ssente zaabwe era ayagala okukabaggyako asooke kubaliyirira.
Omu ku basuubuzi abaatwala KCCA mu kkooti Wilberforce Mubiru yayogedde ku kiragiro nti ekyabatwala mu kkooti kunoonya bwenkanya banunule akatale kaabwe okuva mu mikono gya Gavumenti (KCCA).
Yagambye nti baagala okumanya mu nkalala baawandiikamu batya ku nsonga y’obwannannyini bw’emidaala n’amaduuka era ani yabakkiriza.
Mu kiragiro kya KCCA ekyasooka, omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yategeeza nti bakkiriziganya nakyo tebasobola kujeemera kkooti. Munnamateeka wa KCCA yalaga nti okuwandiika kwakoma nga May 25, 2025.
KCCA yeddiza obutale bwonna mu Kampala obwali buguziddwa abasuubuzi ku kiragiro kya Pulezidenti kyokka abaali babusasudde nga aba SSLOA mu St. Balikuddembe, ab’e Nakasero n’awalala baafulumizibwa tebasasuddwa.