Pulezidenti abawabudde ku binaabaggya mu bwavu Spice

Pulezidenti abawabudde ku binaabaggya mu bwavu Spice

Balekye ng’akwasa omu ku bavubuka katoni y’eng’ano. Mu jaketi enzirugavu ye Ndase.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni akubirizza abantu okuyiga okweterekera ku katono  ke baba bafunye olwo basobole okulwanyisa obwavu mu maka gaabwe.
Bino byabadde mu bubaka bwe bwe yatisse avunaanyizibwa ku mak g’obwapulezidenti,  Jane Balekye, bwe yabadde atongoza pulogulaamu ya Youth Wealth Creation Program.
Pulogulamu eno ekwanaganyizibwa omukungu okuva mu maka g’obwapulezidenti, Faisal Ndase, ng’essibwamu ssente amaka g’obwapulezidenti okukulaakulanya abantu. Yatandika mu 2022, n’ekigendererwa eky’okusitula embeera z’abantu abakola emirimu egya bulijjo naddala abavubuka.
Abavubuka abasoba mu 900, be baakaganyulwa mu pulogulaamu eno nga ku bano kuliko; abatunzi b’ebyalaani, abakola mu saluuni, abasiika chapati, aba chipusi n’abasiika emberenge.
Ku mulundi guno abavubuka abali eyo mu 170, mu muluka gwa Kamwokya 11 aaganyuddwa mu nteekateeka eno nga bakwasiddwa ebikozesebwa mu bizinensi okuli engano, ebyalani, butto buli omu liita 20, ensawo y’obummonde, ddulaaya za saluuni, obuuma obusiika emberenge n’ebirala. Balekye yabakubirizza obutatunda bintu bibaweereddwa wabula babikozese okukyusa embeera zaabwe.
Faisal Ndase yategeezezza nti bwe bava mu bitundu by’e Kamwokya bagenda
 udda mu Kisenyi, Katwe, Makindye ne Kawempe olwo balyoke bakwate ku bitundu bya Wakiso