Abasomesa n’abayizi batenderezza Pass PLE wa Bukedde

ABASOMESA n’abayizi b’ekyomusanvu ku ssomero lya Strathearn Primary School erisangibwa e Masanafu mu munisipaali y’e Lubaga batenderezza obukugu bw’ebibuuzo ebitegekebwa abasomesa mu katabo ka Bukedde aka Pass PLE

Abasomesa n’abayizi batenderezza Pass PLE wa Bukedde
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Pass ple #Bukedde #Katabo

ABASOMESA n’abayizi b’ekyomusanvu ku ssomero lya Strathearn Primary School erisangibwa e Masanafu mu munisipaali y’e Lubaga batenderezza obukugu bw’ebibuuzo ebitegekebwa abasomesa mu katabo ka Bukedde aka Pass PLE bye bagambye nti, bisukkiridde okuba ku mutindo era bibakoze obulungi obutagambika.

Alex Katende, Omusomesa W’essomero Lya Strathearn Primary School E Masanafu Ng’ayambako Abayizi Okusoma Nga Bakozesa Akatabo Ka Pass Ple.

Alex Katende, Omusomesa W’essomero Lya Strathearn Primary School E Masanafu Ng’ayambako Abayizi Okusoma Nga Bakozesa Akatabo Ka Pass Ple.

Bino baabitegeezezza ttiimu ya Bukedde abakola akatabo ka Pass PLE, eyabadde ekulembeddwaamu omu ku bavunaanyizibwa ku kutunda empapula z’amawulire ga Vision Group, Andrew Kamukama, abaagenyiwaddeko
ku ssomero lino okulaba bwe bettanira okukozesa akatabo kano wamu n’okufuna endowooza zaabwe ku biki bye bandyagadde byongerwemu oba bikyusibweemu.

Ddayirekita waalyo, Edward Katalemwa, yagambye nti, obukugu obwolesebwa abasomesa abawandiika ebibuuzo n’ebyokuddamu (answers) ebibeera mu katabo kano akafulumira mu Bukedde buli Mmande n’Olwokuna buli waggulu era abakakozesa tebejjusa.

Katalemwa yagasseeko nti, ng’oggyeeko akatabo ka Pass PLE n’amawulire gennyini aga Bukedde akatabo kano mwe kabeera nago ga mugaso nnyo 8 Bukedde Lwakuna July 17, 2025 AMAWULIRE eri abayizi kubanga gabayambye okuyiga okusoma olulimi Oluganda okwo ssaako okumanya ebiba bigenda mu maaso mu nsi ate nga n’ebimu bibuuzibwa mu bibuuzo bya UNEB.

Alex Katende omusomesa wa P.7, yategeezezza nti, abayizi 40, be balina omwaka guno bagumu nti, bonna bagenda kuyitira waggulu olw’ebyo bye baggya mu katabo ka Pass PLE n’ebyo abasomesa baabwe bye babasomesa.

Agamba nti, akatabo kano tekakoma ku kya kuyamba bayizi bokka wabula nabo ng’abasomesa kabayamba okwekeberamu bwe bayimiridde mu nkwata ya ‘siribaasi’ era n’asiima Bukedde bwatyo n’akubiriza amasomero amalala okukettanira baleme kusigalira mabega.

Abayizi baategeezezza nti, okuyita mu katabo ka Pass PLE omutindo gwabwe mu kusoma gwongedde okulinnya era basobodde n’okutandika okwekkiririzaamu ne basiima abasomesa baabwe ababagulira Bukedde ono.