BANNANYINI bizinensi entonotono abasoba mu 100 beetabye mu musomo gw’ebyobusuubuzi ku Uganda Martyrs University e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi. Abasomesa ku yunivaasite eno baasomesezza abasuubuzi bye beetaaga okukola okuzza bizinensi zaabwe engulu oba okuzitumbula.
Bano kwabaddeko abasuubuzi abeegattira mu bibiina ne bassekinnoomu okuli abalina ssaluuni, amaduuka, emidaala, bbuca n’obuwooteeri. Abalala baabadde basuubuzi b’omu butale n’abalimi.
Omusomo gwabadde wansi w’omulamwa; Okutumbula ekitundu kyaffe nga tuyita mu kugabana amagezi mu bizinensi n’obuyiiya.
Ye Cyprian Sebaggala, akulira ekitongole ky’ebyamasomo ga bizinensi ekya ‘Faculty of Business Administration and Management’ yagambye nti baakola okunoonyereza ne bazuula nti abantu bangi beenyigidde mu by’obusuubuzi kyokka ebitundu 60% tebamanyi kuziddukanya y’ensonga lwaki zigwa. Yunivaasite kye yavudde evaayo ebataase.
Abasomesa okwabadde; Sister Maria Gorretti Nakitende, Jude Kimera, Josephine Namuli, Martin Kasenge Jjuuko ne Dr. Nalela Kizito baasomesezza abasuubuzi omugaso gw’okukwata obulungi bakasitoma na biki bye balina okukola okubawangaaza gattako entunda y’ebintu nga bakozesa yintaneti naddala emikutu emigattabantu.
Abamu ku basuubuzi ababaddeyo
Era baatunuulidde n’ensonga endala ezivaako bizinensi okugwa okugeza; okutunda ebintu ebitali ku mutindo, okunyaga bakasitoma, okubulwa obwesigwa n’obutamanya bakasitoma bo, bye beetaaga ne gy’olina okubasanga. Bizinensi endala zigwa olwa bannannyinizo obutabeera bamalirivu era abayiiya. N’okusasula omusolo kikulu nnyo era obutaguwa kiviirako bangi okufiirwa bizinensi zaabwe.
Ye Pulofeesa Patrick Kyamanywa n’omumyuka we Fr. Dr. Christopher Mukidi beebazizza abasomesa olw’okutegeka omusomo ogugenda okutumbula bizinensi z’abantu. Kyamanywa agamba nti n’abayizi bagenda kwetaba mu kaweefube oyo nga bayamba abasuubuzi okuyiga okubala ebitabo, enkwata ya bakasitoma n’okulanga ebyamaguzi byabwe.
Omusomo guno era gwetabiddwaako meeya w’akabuga k’e Kayabwe Zed Kasule, ttawuni kkiraaka Micheal Lutalo Ssenyonjo n’abakungu okuva mu bbanka ya Centenary.