OKUTULUGUNYA abaana mu ngeri yonna, musango gwa nnaggomola kyokka amasomero mangi aga pulayimale ne siniya gakyakuba kw’ogatta okuwa abayizi ebibonerezo ebikakali. Bino nno tebikoma ku kukosa bayizi naye abamu beetamwa, eby’okusoma ne babivaako.
Mu disitulikiti y’e Jinja, abasomesa 35 abakola ku nsonga z’abayizi (senior women ne senior men) beegasse okulwanyisa okutulugunya abaana mu bitundu byabwe. Bano bava mu masomero aga gavumenti n’agobwannannyini.
Abasomesa nga bakubaganya ebirowoozo
Bagenda kumanyisa basomesa bannaaabwe n’abazadde ku ddembe ly’abaana n’engeri gye balina okugunjulwamu nga tebakubiddwa oba okulumizibwa. N’abaana bagenda kumanya eddembe lyabwe ne gyebalina okuloopa nga lityoboddwa. Kino abasomesa basuubira nti kigenda kuyamba abayizi okunyumirwa okusoma okutuuka bwe balimalako yunivaasite.
Abasomesa bano baakungaanidde ku MM Wairaka College gye beetabidde mu musomo ogwakulungudde ennaku ssatu. Gwategekeddwa minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo ng’eri wamu n’ekitongole kya UNESCO ne Trailblazers Mentoring Foundation (TMF) wansi w’omulamwa; Connect with respect. Building positive respective relationships and reducing gender based violence in schools.
Ekivvuulwa; “Okuzimba emikwano n’enkolagana ennungi kisobole okukendeeza okutulungunyizibwa kw’abaana mu masomero”
Joyce Atimango, akulira TMF agamba nti; “Amasomero galina okukuuma n’okubudaabuda obulungi abayizi basobole okugeeyagaliramu kubanga gye basinga okubeera.”
Wabula, mu kifo ky’okukuuma abayizi, ate abasomesa abamu babaddako ne babatulugunya oluusi nga tewali musango gwa maanyi gwe bazzizza. Waliwo n’ababakuba olw’okugwa ebibuuzo. Kino nno Atimango agamba nti kiviirako abaana bangi okudduka mu masomero n’ebyokusoma ne babivaako.
Ono yawadde engeri ez'enjawulo abasomesa gye basobola okumalawo okutulugunya abaana