Abasuubuzi ba Masaka Central balaze ebizibu ebibaluma

ABASUUBUZI abakolera mu katale aka Masaka Central Market balombozze ebizibu bye bagamba nti bibalemesezza okubaako kye beekolera.

Akatale ka Masaka Central. Wabweru be basuubuzi b’akatale k’omubuulo nga bayiye emmaali.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASUUBUZI abakolera mu katale aka Masaka Central Market balombozze ebizibu bye bagamba nti bibalemesezza okubaako kye beekolera.
Mu bizibu bino mulimu amasannyalaze agavaavaako, ab’amaduuka okutunda ebintu
bye bimu n’ab’omu butale bw’omubuulo okwefuga we bakolera ekivuddeko bye batunda okuvundira mu midaala.
Farouk Kazibwe, amyuka ssentebe w’abatunda ebirime mu katale kano, yategeezezza nti baali basuubira nti engeri Gavumenti gye yeddiza okuddukanya obutale, wajja kubaawo enkyukakyuka naye embeera ebasobedde nga n’abamu ku bannaabwe omulimu bagudduseemu lwa kufiirizibwa.
Kazibwe yalaze obwennyamivu olw’abakulira ekibuga Masaka obutavaayo kukwasisa mateeka eri ab’obutale bw’omubuulo be yagambye nti ennaku ze bakola zibuutikira bo abasasula emidaala ne bakomekkereza ng’emmaali yaabwe yonna evunze olw’okubulwa abaguzi.
Ono agamba nti ab’akatale k’omubuulo oluva mu katale k’omu Nyendo ku Lwokubiri, ebintu ebiba bisigaddewo babireeta mu katale e Masaka ne batundira ku mbalaza ekitawa mwagaanya abo abalina emidaala mu katale munda kufuna baguzi.
Yagambye nti kino kyetaaga okulondoola abakulembeze b’ekibuga. Yayogedde ku masannyalaze agaggyibwako buli kaseera olwo enzikiza n’ekwata akatale konna nga kiba kizibu abaguzi okuyingira munda.
Ng’oggyeeko bo, ne bannaabwe abasasula yaka babonaabona kye kimu nga bano amata n’ennyama bye batunda byonooneka buli amasannyalaze lwe gavaako kw’ossa n’ababbi okumenya amaduuka gaabwe.
Amasannyalaze g’akatale kano gakolwako kkampuni ya Pegasus Technologies Limited ng’eno ye yakola endagaano ne minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu okugasolooza
ng’ensimbi ezivaamu zigenda butereevu eri bannannyini kkampuni, ekibobbya abasuubuzi emitwe.
Kino tekiri Masaka yokka wabula ne mu butale obulala obuli mu nteekateeka ya MATIP
(Market and Agriculture Trade Improvement Programme).
Zubeda Lunkuse, atunda obummonde yategeezezza nti enkuba bw’etonnya, amazzi ganjaala we bakolera wonna embeera n’eyongera okubakaluubirira.
Ono ekizibu akissa ku myala gy’agamba nti gyazibikira ne gitasobola kutwala mazzi n’asaba abakulembeze babataase.
Akulira ebyemirimu mu kibuga Masaka, Daniel Christopher Kaweesi yagambye nti bagenda kukwatira wamu n’obukulembeze bwa Divizoni ya Nyendo Mukungwe, ebizibu bino bigonjoolwe. Yanokoddeyo ab’akatale k’omubuulo be yagambye nti balina kukola Lwakutaano lwokka lwe bakkiriziganyaako ate tebalina kukolera mu luguudo kutaataaganya balala. Kaweesi yategeezezza nti kkampuni esolooza amasannyalaze, kizibu kinene gye bali naye bagezaako okwogeraganya ne minisitule
balabe ekiyinza okukolebwa ab’akatale bawone ekibululu