AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo ayongedde ebbugumu luzannya lw’e bikonde kasameeme omugenda okubeera ennwana 26, nga bamusaayi muto beraaga eryannyi.
Namyalo yagulidde abavubuka b’omu Gheto y’e Banda B, mu ggombolola y’e Nakawa tiketi za bukadde 4, okuyambaako abawagizi ba musaayi muto
Alex Kanaabi 23, gwe bugenda okwefuka n’omuyizi w’e ssomero lya Kololo High, Neric Tumusiime 20, amanyiddwa nga Neric Bulaabe.
Olulwana luno lwakubeerawo ku Lwomuka July, 26,2025, ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga omuwanguzi mu mpaka zino eza “Uganda Boxing Champions League” ez’oluzannya olwokuna [Season 4, - Week 7] agenda kubeera atangaazizza omukisa gye okwetaba mu mpaka z’amakalirizo nga December/26/2025 nazzo ezinabeera ku MTN Arena e Lugogo.
Hajati Namyalo ng'ali n'abazannyi b'ebikonde
Anawangula empaka zakamalirizo mu December/26/2026 agya kutwala omusiipi gwa “Light Middle Weight] ogwa 71Km era nga guno gutegezza kinenne eri buli muzannyo wa bikonde ayagala okuzannyako ebikonde by’e nsi yonna.
Nickson Muhairwe nga yatendeka Alex Kanaabi yagambye nti emiryango gya kugulwawo ku Lwomukaaga ku ssaawa 11:00 eza kawungeezi era tiketi zitandiikira ku 20,000/-, omuntu owa bulijjo, 50,00/- ne 100,000/- eza bakungu’ Kyokka emezza okutuula abakungu zitandikira ku 500,000/- ne 1,000,000/- .
Namyalo yawadde Kanaabi amagezi obutabandaza Eric B ulaabe mu miguwa, oluba nga yakayingira bwati mukubireewo ku meeme ekikonde kimu nga nnakingu w’e bikonde Mike Tyson bwe yakola nga aggwe eri n’ekyo kiggwe kubanga Pulezidenti Museveni ayagala nnyo abavubuka b’omu Ghetto okulaba nga nabo basobola okusitula ebitone byabwe basobole okubifunamu.
“Eno y’e nsonga lwaki nvuddeyo okulaba nga mpagira Kanaabi ava mu Ghetto y’e Banda B, mu Nakawa ng’akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga kubanga ebikonde bino mulimu gwe nnyini ate omuvubuka omu bwayitamu asobola okukwatta ku balala ne bayimuka” Namyalo bweyategezezza.
Yabawadde amagezi okubeera n’e mpiisa n’okulemerako kubanga kikulu nnyo naddala mu mizannyo n’obulamu obwa bulijjo.