ETTEMU E MUKONO: 6 bavunaaniddwa ogw’okutta omukungu

ABASAJJA musanvu abavunaanibwa omusango gw’okutta omukungu wa Compassion International Uganda eyali avunaanyizibwa ku byensimbi, Godfrey Wayengera basimbiddwa mu kkooti.

Abaakwatibwa nga baakatuusibwa ku kkooti e Mukono.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASAJJA musanvu abavunaanibwa omusango gw’okutta omukungu wa Compassion International Uganda eyali avunaanyizibwa ku byensimbi, Godfrey Wayengera basimbiddwa mu kkooti.
Baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Mukono, Elizabeth Peace Lamunu ne bavunaanibwa omusago gw’obutemu, okuwamba abantu n’okubbisa eryaanyi.
Abavunaaniddwa ye; Asharaf Tumusiime (40) amanyiddwa nga Obadia, Fahad Kasolo (30), Mike Ssenteza (40) amanyiddwa nga Mwagamwaga, Sgt. Muhammad Mwesigye (50) eyeeyita Jet Lee ng’ono kyewaggula mu ggye lya UPDF, Cpl. Borban Mugabe ng’ono wa Military Police e Kololo, Derrick Keeya, Dauda Kyangwe n’abalala abakyayiggibwa.
Kkooti yategeezezza nti, bano mu kiro ekyakeesa nga June 9, 2025 ku kyalo Nsuube A mu Mukono Central Divizoni, nga bakozesa emmundu enjigirire n’emiggo, baawamba Wayengera ne Christine Najjabi oluvannyuma ne bakozesa emmundu yaabweenjigirire ekika kya baasitoola n’emiggo ne bakuba Wayengera ne bamutta.
Kkooti yategeezezza nti, bano era oluvannyuma lw’okuwamba Wayengera ne Najjabi, baababbako ebintu byabwe omwali essimu ekika kya Sumsung SMA256E ebalirirwamu akakadde kamu n’emitwalo 30,
kompyuta ekika kya laptop Dell Latitude 5420 ebalirirwamu obukadde busatu, so nga ye Najjabi baamubbako essimu ekika kya Techno Spark 10 ebalirirwamu emitwalo 80.
Omuwaabi wa Gavumenti e Mukono, Emily Ninsiima yategeezezza omulamuzi Lamunu nti, okunoonyereza mu musango guno kukyagenda mu maaso bano n’abasindika ku alimanda mu kkomera.
Omulamuzi yabagaanyi okubaako okusaba kwe bakola n’abategeeza nti, kkooti ye tekkirizibwa kuwozesa musango gugwa mu kkowe ly’egyo bano gye bazza nga baakukomezebwawo mu kkooti nga August 7, baddemu okubasomera emisango.
Bano baakwatibwa okuva mu bifo eby’enjawulo abeebyokwerinda ab’enjawulo oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okubalagira okukola kyonna kye basobola okulaba nga bakwata abatta Wayengera