Ssekabaka Jjunju yatabaala Bunyoro n’awonya Abaganda enjala

SSEKABAKA Jjunju ye Kabaka wa Buganda owa 26 era nga yali mulwanyi ate omuzira. Abantu be bwebaalumbibwa enjala, yasalawo butazinga mikono, yakwataengabo n’amafumu n’alumba Bunyoro, okukkakkana ng’agiwambyeko ekitundu kyaBuddu, Abaganda ne bafunayo emmere eyabayisa mu njala.

Ssekabaka Jjunju.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SSEKABAKA Jjunju ye Kabaka wa Buganda owa 26 era nga yali mulwanyi ate omuzira. Abantu be bwebaalumbibwa enjala, yasalawo butazinga mikono, yakwata
engabo n’amafumu n’alumba Bunyoro, okukkakkana ng’agiwambyeko ekitundu kya
Buddu, Abaganda ne bafunayo emmere eyabayisa mu njala.
Omumyuka wa Katikkiro w’Ekika ky’Envuma, Lawrence Lugoloobi yagambye nti;
Ssekabaka Jjunju yalamula Obuganda okuva mu mwaka gwa 1780 okutuuka mu 1797
era nga yali mutabani wa Ssekabaka Kyabaggu ate ngannyina ye Nanteza ow’Enjovu. Mu kulumba Buddu, Ssekabaka Jjunju kino yakikola ng’atum  muganda we Omulangira
Ssemakookiro agende amutabaalireko Buddu oba Bwera nga bwe yali eyitibwa mu kiseera ekyo, era omulimu guno Ssemakookiro yagutuukiriza.
Kyokka Abatabaazi bwe baali bagenda e Buddu, baasanga okusoomoozebwa mu kusomoka omugga Katonga era baamala ekiseera kinene nga gubalemye okusala. Kyokka baali bali awo, Katonda n’ababoneekereza omusajja ayitibwa Kajabaga eyali
omuvubi w’ensonzi za Winyi eyali akulembera Bunyoro mu biseera ebyo ng’asomose omugga Katonga era ng’azze gye bali. Ono baamukwata ne bamukaka abalage
w’asalidde omugga.
Musajja wattu Kajabaga yali talina kya kukola okuggyako okubalagawo era nga waali ku kyalo Kitakyusa. Wano abalwanyi ba Jjunju we baasomokera okukkakkana nga bayingidde Buddu era ennyago ne bazikekeza buteddiza okukakasa ng’Essaza eryo baliwambye ku Bunyoro era Abaganda ne batandika okulya emmere eyaliyo.
Omuwandiisi w’ekitabo ‘Ekitiibwa kya Buganda’ agamba nti; Olw’okuba Abanyoro
baakimanya nti, taba kuba Kajabaga, Abaganda tebandibatuuseeko, waavaawo enjogera egamba nti, ‘Okatusombedde, Kajabaga ke yasombera Abaganda b’e Bwera’. Wano baali bategeeza kubaleetera
buzibu. Olw’okuba Jjunju yali tasaaga,  olutalo olwawamba Buddu lwayingira
n’Ekiziba kati ekisangibwa mu Tanzania nayo ne banyagayo ente n’abakazi Abasongola abajja ne beetabula ne Buganda era ne bazaala abaana bangi.
Olw’entalo Jjunju ne Ssemakookiro ze baalwana era ne bagaziya Obuganda, Abaganda kye baava babayimbamu oluyimba olugamba nti, “Baalwana, baalwana Ssemakookiro ne Jjunju Obuganda bwonna baabuwanguza na mpiima”.
OKWAGALA MUKA MUGANDA WE KY’AMUVIIRAKO OKUTTIBWA

Sir. Apollo Kaggwa mu kitabo kye ekyitibwa ‘Empisa za Baganda’ agamba nti; Wadde Ssekabaka Jjunju yali mulwanyi nnamige, yafuna amabbabbanyi g’omukwano
eri muka muganda we Omulangira Ssemakookiro, eyali olubuto, era bwe yamugaana n’alagira bamusalemu omwana alabe oba muwala oba
mulenzi.
Ekyo kyatengula nnyaabwe Namasole Nanteza eyawa Ssemakookiro amagezi atabaale muganda we amuggye ku Nnamulondo, era mu lutalo luno Jjunju mwe yakisiza omukono. Amasiro ga Jjunju gali Luwunga mu Busiro.