Omuyizi abadde agenda okutuula ebigezo bya siniya eyokuna, attiddwa mu bukambwe, abavubuka bwe bamufumbikirizza ng'adda awaka, ne bamufumita ebiso , ebimusse.
Shafik Wasike ng'abadde muyizi ku ssomero lya Mbale High School mu kibuga Mbale yattiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa abagambibwa okuba abayizi b'essomero eritannamanyika.
Rodgers Taitika ng'annyonnyola
Bamufumitidde kumpi ne Wamba stores. Kirowoozebwa nti okuttibwa kwe, kw'aliba nga kuvudde ku mbiranye eziri mu masomero e Mbale era nga mu kiseera kino, omulambo , gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale , okugwekebejja ng'omuyiggo gw'abatemu , gukolebwa.
Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti okuttibwa kw'omuyizi ono, kwongedde okwewanisa emitima, olw'obumenyi bw'amateeka obufumbekedde mu bamu ku bayizi b'amasomero e Mbale.