Baleese kkoosi y’abakulembera ebitongole by’Eklezia

Ng’oggyeeko okulyowa emyoyo, abakulembeze mu Eklezia bakola omulimu gwa ttendo mu kuddukanya amasomero, amalwaliro ne pulojekiti ez’enjawulo eziri ku mitendera egyenjawulo. 

Bannaddiini ssaako n'abakulembeze nga bali mu kifaananyi eky'awamu
By Ritah Mukasa
Journalists @New Vision

Ng’oggyeeko okulyowa emyoyo, abakulembeze mu Eklezia bakola omulimu gwa ttendo mu kuddukanya amasomero, amalwaliro ne pulojekiti ez’enjawulo eziri ku mitendera egyenjawulo. 
Bano kuliko bannaddiini n’abatali. Wabula, nga bakola emirimu gyabwe, abakulembeze bano bafuna okusoomoozebwa nga buva ku buli bwenguzi, ebyenfuna, okwagala okutambula n’omulembe n’obukulembeze obubi.  Bino nno bittattana erinnya ly’Eklezia. 

Msgnr Kasibante ng'ayogerako n'abeetabye mumusomo

Msgnr Kasibante ng'ayogerako n'abeetabye mumusomo


Mu ngeri y’okwanganga ebizibu ebyo, abakulira Uganda Martyrs University (UMU) e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi batongozza kkoosi egendereddwaamu okubangula abakulembeze. Kkoosi eno ey’ennaku omukaaga yatuumiddwa; Short course on effective governance and management of church Institutions. Yagguddwaawo ku Mmande nga July 28 era abakulembeze abasukka mu 30 okuva mu masaza g’Eklezia ag’enjawulo ge gaagyetabyemu.
Msgr Charles Kasibante eyakiikiridde omugenyi omukulu, Ssaabasumba w’essaza lya Kampala, His Grace Paul Ssemogerere yagambye; “Essomo lino lyamugaso nnyo kubanga ligenda kuyamba abakulembeze okwewala n’okulwanyisa enguzi, obuluvu n’enfuga embi.” Agamba nti abakulembeze ba Eklezia balina okubeera ebeerufu era ab’amazima mu buli byebakola.
 “Okusaba kwokka tekimala. Tulina okubeera abakulembeze abalungi abafaayo eri be bakulira era abeerufu mu byenfuna byebabakwasizza,” bwe yagambye.

Abamu ku bakulembeze abeetabye mu musomo

Abamu ku bakulembeze abeetabye mu musomo


Rev. Fr. Dr. Christopher Mukidi, amyuka akulira yunivaasite ayongerako nti yadde ng’ebitongole by’Eklezia biri ku musingi gwa Kristu ne Bayibuli, era bifuna okusoomoozebwa mu mbalirira n’obukulembeze obubi nga bino byonna bittattana Eklezia.
Kkoosi eno egenda kuyamba okukyusa enkola y’emirimu.
Ye Pulof. Patrick Kyamanywa, akulira UMU yakkaatirizza ebirungi ebiri mu bwerufu, obwesigwa n’obuvunaanyizibwa. “Tulina okwekeberanga engeri gye tukulembera kubanga obukulembeze bwe bunafuwa, Eklezia enafuwa abantu be bagivaamu.”
Omu ku basomesa, Ambrose Kibuuka Mukiibi yagambye nti abakulembeze bagenda kuyiga obukodyo bungi obugenda okubayamba okukulembera ebitongole mu ngeri ebitwala mu maaso.