OMUKAZI akwasizza munne omwaana omuwere amuyambeko asooke akube ebifaananyi mu kkanisa nga bagenze okusaba agenze okutunula emabega nga ‘sisita’ gw’akwaasizza omwaana abuzeewo naye.
Akubyekubye ku banne okumuyambako banoonye omukazi amubbyeko omwaana ne bagezaako okunoonya omukazi kwe kufuna amawulire nti bamulabye alinnya bodaboda nga yeeyongerayo.
Bbebi Gwe Baatutte.
Angel Muwanguzi 27, gwe babbyeeko omwana ku kkanisa. Ono mutuuze w’e Kirangira e Mukono era omwana gwe baamubbyeko abadde ayitibwa Richard Kakeeto nga wa myezi 3 n’ekitundu
Muwanguzi agambye nti omwana baamumubbyeko ku ssande eyaakayita ku kkanisa ya Power Of Miracle Healing Centre bwe yabadde agenze mu katale k’ebirime akabeerawo buli lwa ssande okusuubula eby’okulya abitwale mu Kirangira e Mukono gy’abeera.
Yategeezezza nti engeri akatale gy’asuubula gye kataba ng’obudde bugenzeeko, yasazeewo asooke agende mu kkanisa okusaba nga bulijjo bw’abaddenga akola oluvannyuma addeyo mu katale akali okumpi n’ekkanisa asuubule.
Muwanguzi anyonnyola nti mu kusaba waabaddewo omukyala gwe yabadde atudde naye ng’akuzizza olubuto ye kwe kusituka n’omwanawe akube abaana ebifaananyi n’essimu ey’omu ngalo.
Muwanguzi Ng'akaabira Bbebi We
Omukyala gwe yabadde atudde naye ow’olubuto kwe kumusaba omwana amumukwatireko akube bulungi ebifaananyi era naye n’akkiriza.
Ayongera n’agamba nti olwamaze okukuba ebifaananyi bye yabadde ayagala, yakomyewo we yabadde atudde okwetegereza ng’omukyala tamulabako kwe kubuuza banne ne bamutegeeza nga bwe balabye ng’afuluma ebweru.
Yasoose kufuluma wabweru alabe oba gyali nga taliiyo, kwe kusalawo agendeko mu kaabuyonjo kyokka nga nayo taliiyo.
Muwanguzi eyabadde atandise okuvaamu amaziga yabuuzizza abaana be yasanze wabweru oba bamulabidde ku mukyala abadde asitudde bbebi ne bakamutema nti yalinnye dda bbooda ng’agamba nti agenze kugulira bbebi byakulya era bbooda yakutte ku ky’e Namataba ekiri ku luva e Lugazi okudda e Mukono kyokka nti nayo teyatuuseeyo yaviiriddeko Kitega okumpi ne Lugazi n’alinnya taxi.
Muwanguzi yagguddewo omusango gw’okubba omwana ku Poliisi e lugazi era owogezi wa Poliisi mu Kitundu kya Ssezibwa Helen Butoto akakasizza omusango guno kyokka n’awa abakyala amagezi obutamala geesiga bantu wadde babasanze mu masinzizo n’agamba nti olumu abantu bagenda mu masinzizo nga balina ebigendererwa ebirala.
Butoto asabye abantu okuyambako poliisi okuzuula omwana eyabbiddwa.