BAPULEZIDENTI, Trump ne Putin ab’amawanga agasinga amaanyi mu by’ekijaasi mu nsi, buli omu awadde munne nsalesale enkambwe ku by’olutalo lwa Ukraine.
Donald Trump owa America ye yasoose n’awa Vladimir Putin owa Russia nsalesale okukomya olutalo lwa Ukraine mu nnaku 10 zokka.
Yasooka kumuwa nnaku 50 okuggwaako ng’asirisizza emmundu mu Ukraine oba si kyo,
America ewe Ukraine emmundu ezikuba Russia egitamye olutalo.
Russia eyasooka okusirika, ku luno Putin kyamususseeko nga Trump awadde ennaku 12 ate nazo n’azisala n’awa 10 zokka nga Putin alagidde basajja be basirise
emmundu mu Ukraine.
Yalagidde nti mu bwangu ddalang’agaanye okukikola, agenda kulagira basibe Russia nnatti ezitalabwangako n’emisolo emikambwe. Emisolo ku by’obusuubuzi Trump yalabye giyinza obutakosa Russia kubanga wasangiddwawonatti eziremesa America okusuubulagana na Russia, n’atiisatiisabw’agenda okuteeka emisolo ku mawanga agakolagana ennyo ne Russia.
Wadde teyayatudde mawanga ago naye China kisuubirwa y’emu ku gagenda okulugwamu.
Trump ayagala ayongere emisolo gya bitundu 100 ku 100 ku mawanga agasuubula ne Russia Ekyo kiba kitegeeza nti kumpi amawanga gonna gagenda kulemererwa okusuubula ne Russia bwe gaba gakyayagala okusuubulagana ne America oba olukalu
lwa Bulaaya.
Kino era kitegeeza nti China nga ly’erimu ku mawanga agakyasinze okubeererawo Russia, ejja kuba mu kattu ku kusalawo oba egyabulira oba egumira natti
z’ebyobusuubuzi.
Ebya Trump olwagudde mu matu ga Putin, yalagidde musajja we atamutiiririra mu mbeera yonna n’ata akaka.
Bamuyita Dmitry Medvedev ng’ono naye yaliko Pulezidentiwa Russia era akulira akakiiko k’ebyokwerinda aka Russia security Council.
Yasoose ne yeewuunya lwaki baweebwa nsalesale n’abulako kugamba nti, be balagira si baana bato n’asaba baleke kubatiisatiisa.
Okusinziira ku mawulire ga RT News ag’e Russia, Dmitry yaweze nti, America terina lukusa kugiragira ku kiddako kubanga yo (Russia) si Iran oba Yisirayiri.
Yagambye nti eky’okukyusa ennaku nga leero Trump abawa 50 enkya n’abawa 10, tebajja kukigumiikiriza kubanga bamanyi ensonga kwe baava okulumba
Ukraine.
Wano yazzeemu n’ajjukiza ensonga ezo naddala ey’okugiremesa okwegatta ku mukago gwa NATO.
Yamalirizza alabula nti ku mbeera eriwo, olutalo lwa Ukraine lutuuse okuva ku Russia ne Ukraine, ludde wakati wa Russia ne America n’alabula nti kyandibadde
kyewalibwa.
Essaawa eno Trump ali mu ggwanga lya Scotland gye yasisinkanidde abakulembeze
b’amawanga ga Bulaaya ne baddamu okutema empenda ku kunyigiriza Putin asirise emmundu.
Okusinziira ku mawulire ga CBS news America, Trump yakkaanyizza ne Katikkiro wa Bungereza,
Keir Starmer ng’ono y’akulira akakiiko akayitibwa Coalition of the Willing akaategekebwa okukuuma Ukraine singa America ebavaamu, nti ku luno Putin
bw’agaana okuteesa, bagenda kumukeesa olutalo. Trump yasinzidde era awo okugamba nti yeewuunya Putin gwe yasooka okukkaanya naye aweebwe ebitundu bya Ukraine
bye yawamba mu lutalo lwe yaggulawo mu 2022, akkirize okusirisa emmundu kyokka nakyo n’akigaana.
Ebya natti ate nabyo byayongedde kunyiiza minisita wa Putin ow’ensonga z’ebweru, Sergey Lavrov eyalaalise abazungu nti baazibasiba dda naye tezirina kye zibakosa. Naye yalaalise nti olutalo balutwala mu maaso nga bugolo.
Owa Ukraine, Volodymy Zelensky yasanyukidde Trump okukendeeza ennaku ze yali yawa Putin n’amusaba amubinike nnatti ziri zi kaganga asobole okumutamya olutalo