Museveni awadde abatembeeyi obukadde 200

PULEZIDENTI Museveni awadde abatembeeyi abakolera ku nguudo z’omu Kampala obukadde 200 okwongera mu mulimu gwabwe beggye mu bwavu.

Akulira eby’ensimbi mu maka g’obwapulezidenti Jane Barekye (mu kkooti enzirugavu) ng’akwasa abatembeeyi ssente ezaabaweereddwa Pulezidenti e Kololo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni awadde abatembeeyi abakolera ku nguudo z’omu Kampala obukadde 200 okwongera mu mulimu gwabwe beggye mu bwavu.
Abatembeeyi abasoba mu mitwalo abiri abakolera ku nguudo z’omu Kampala baakung’aanidde ku kisaawe e Kololo ku Lwokubiri era buli omu yavuddeyo n’emitwalo 10, ate nga n’emmaali gye baabadde batunda yonna yaguliddwa.
Omukungu okuva mu maka g’obwapulezidenti, Jane Barekye ye yeetisse ssente zino
n’abagamba nti, eno y’emu ku ngeri Pulezidenti gy’ayiseemu okusitula embeera zaabwe mu byenfuna era nga wa kwongera okubakwatirako okulaba nga bakulaakulana.
Yagambye nti, Pulezidenti wa kulondoola enkozesa ya ssente zino noolwekyo bateekeddwa okuzongera mu bizinensi zaabwe so si kuziteeka mu bitagasa.
Omukolo gwetabiddwaako omuwabuzi wa pulezidenti ku by’obufuzi n’okukunga abantu Moses Byaruhanga,Minisita wa Kampala, Minsa Kabanda, era nga ye yasomye obubaka bwa Pulezidenti, obwabaddemu okukuutira abatembeeyi obutacaafuwaza kibuga n’okwewala okulinnya mu muddo. Kabanda yabawadde amagezi okwenyigira mu nteekateeka za Gavumenti ez’okwekulaakulanya okuli; Emyooga ne ParishDevelopment Model, era n’abakuutira okulonda NRM mu kalulu akajja.
Abalala abaabaddewo ye Mmeeya wa Kampala Central, Salim Uhuru, omuwabuzi
wa pulezidenti ku nsonga za Kampala, Hajat Sarah Kanyike, Bassentebe owa NRM mu Kampala ne bannakibiina abalala