BANNAMATEEKA nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Law Society balabudde gavumenti ku bikolwa eby’okutyobola eddembe ly’obuntu ng’Eggwanga lyetegekera okulonda omwaka ogujja.
Okulabula kuno kwakoleddwa mu kutongozza alipoota ekwata ku nfuga eyamateeka ey’emyezi omukaaga ku kitebe kyabwe mu Kampala eyatongozeddwa amyuka pulezidenti w’ekibiina kino Anthony Asiimwe.
Alipoota eno yalazi nti Uganda ekwata kifo kya 126th ku 142 mu nsi yonna mu bikolwa eby’okutyobola eddembe ly’obuntu ate mu Africa 29th ku 34 akabonero akalaga obwetaavu bw’okusitukiramu ng’Eggwanga okulyanyisa ebikolwa bino.
Alipoota yanokoddeyo ebikolwa eby’okulwanagaana n’okukuba abantu mu kulonda,obutaasa kitiibwa munfuga eyamateeka,ekiwamba bantu,okukanadalirizza okuwulira emisango gy’abasibe n’okubalemesa okweyimirirwa,okutyobola eddembe ly’abaana ne bannamawulire n’ebirala.
Asiimwe agambye nti emivuyo egy’eyolekera mu kulonda kwe Kawempe nakamyufu ke NRM, kabonero akalaga nti waliwo obwetaavu eri buli akwatiibwako naddala abakwasisa amateeka okulaba nga buli yeyagalira munsi ye.

Bannamateeka oluvannyuma lw'okutongoza alipoota ekwata ku nfuga y'amateeka mu Uganda
Bannamateeka balaze ebirina okukolebwa okuli;okuvunaana abakuuma ddembe abakuuma ddembe abatyobola eddembe ly’obuntu ng’abantu ssekinoomu,
Okuggya amaggye mu by’okulonda nakakiiko ke by’okulonda okutegeka okulonda okwamazima n’obwenkanya.
Akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu okugoberera n’okulonda embeera zonna ezikwata ku bikolwa eby’okutyobola eddembe ly’obuntu n’okuyamba abantu okufuna obwenkanya.
Palamenti okuddamu okwekenenya etteka lya maggye eryasibwa gye buvuddeko eriwa kkooti yamaggye enkizo okuwozesa abantu babulijjo.
Okuwuliriza emisango gya basibe mu bwangu n’okukkiriza abagala okweyimirirwa okweyimirirwa kikendeze ku mujjuzo mu makomera.
Akulira Uganda law society Christine Awori yagambye nti oluvanyuma lw’okufulumya alipoota eno bakuteeka ebitongole bya gavumenti byonna ku nninga okulaba ng’efuga eyamateeka egobererwa n’okusa ekitiibwa mu dembe ly’obuntu.
Awori agambye nti ebikolwa eby’okutyobola eddembe ly’obuntu bitatanya ekifaananyi ky’Eggwanga lyaffe nga y’ensonga lwaki buli muntu asanye okuvaayo okuvumirira n’okubirwanyisa ebikolwa bino