OBULABIRIZI bw'e Mukono, bwetaaga ensimbi obuwumbi 9 okumaliriza omulimu gw'okuzimba lutikko egenda okutuuza abantu abawera 5,000.
Ekkanisa eriwo mu kiseera kino, yazimbibwa emyaka nga 100 egiyise nga tekyatuukana na mulembe ate era nga nfunda okutuuza Abakrisaayo abawerako.
Omulimu gw'okuzimba kkanisa bwe gufaanana kati.
Olw'enteekateeka eno, Omulabirizi w'e Mukono Ow’okutaano, Bishop Kitto Kagodo, akulembeddemu ekibinja okubadde ba Ssaabandinkoni n'abaawule ab’enjawulo, okukyalirako akulira kkampuni ya Vision Group, Don Wannyama , asobole okubayambako mu kusonda ensimbi z'okuzimba.
OMulabirizi w'e Mukono Kagodo (ku kkono) n'abalala abaamuwerekeddeko mu ofiisi za Vision Group.
Bategese ebintu eby'enjawulo omunaava ssente ez'okuzimba ekkanisa eno nga muno, mulimu emisinde mu bunabyalo nga October 4 omwaka guno e Mukono n'ebijjulo eby'enjawulo nga kw'ogasse n'ensiisiira z'ebyobulamu.
Omulabirizi Kagodo, asiimye omulimu omulungi ogukolebwa kkampuni ya Vision Group gw'ayogeddeko ng'ogubayambye ennyo mu buweereza bwabwe.
EKifaananyi ekisiige ekiraga Lutikko bw'egenda okulabika.
Ye Rev. Abbey Mmere Ewooma, naye ayiseeyise mu bimu ku bigenda okukolebwa n'ebikoleddwa mu kuzimba ekkanisa mu myaka ebiri.
Mu kwogera kwe, akulira kkampuni ya Vision Group Don Wannyama, yeeyamye okubakwatizaako ku mulimu gw'okuzimba.
Omukubiriza w'Abakristaayo ku Vision Group era akulira Bukedde, Radio Ronald Sebutiko asiimye omulimu omulungi ogukolebwa bannaddiini era n'asaba essaala ey' Omukisa okuva eri Omulabirizi.
Don Wanyama ng'ayogera n'abalabirizi abazze.