ABATUUZE ababadde abanyiivu, bakkakkanye ku muvubuka agambibwa okuwamba omwana ow'emyaka esatu ne bamukuba ne bamuleka ng'ataawa.
Kigambibwa nti omuvubuka ono Erisa Asingwire 25 , yawambye omwana ow'emyaka esatu okuva mu maka g'abazadde be e Nabiswera mu muluka gwa Kyangogolo mu ggombolola y'e Nabiswera e Nakasongola n'abakanda ssente obukadde 10.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Tweanamazima ategeezezza nti omwana bamuzudde nga mulamu ate Asingwire n'atwalibwa mu ddwaaliro e Nakasongola okuweebwa obujjanjabi ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.