PULEZIDENTI Museveni ng’ayita mu offiisi ye nga ssentebe wa NRM mu ggwanga ekulirwa Hajjat Hadijah Namyalo [ONC] bakomezaawo bannayuganda 12, abaabadde basiraanira e South Afrika wakati w’e myaka 5-10, nga tebalina mpapula.
Bannyuganda abava e South Africa nga batuuse ku kisaawe e Ntebe
Abakomezeddwawo temwabadde kusooka ku manya kibiina kya byabufuzi ky’owagira wabula abo ababadde bawulira nga obulamu bubalemeredde oluvannyuma lw’okugendayo nga basubira okufunaayo emirimu kyokka ne basanga nga bye babasubiza si bwekiri.
Ku bakomyewo abasinga baganye okwogera ebibakwatako n’amanya gaabwe kyokka kwabaddeko abasajja basattu n’abakyala basattu gattako n’abaana mukaaga kyokka nga tebabadde bafumbo.
Bayaniriziddwa Hajjat Namyalo ku kisaawe e Ntebbe leero ku Mmande ku ssaawa ssaawa 4:00 ez’oku makya nga bagidde mu nnyonyi ya ‘Rwanda Air’ Kyokka batutte essaawa nga nnamba nga Namyalo akola ku nsonga zaabwe basobole okufuluma ekisaawe era ne bafuluma.
Namyalo agambye nti Pulezidenti yamusindika e South Africa nga July /12/2025 okulaba embeera bannayuganda abawangalirayo gye bayitamu nasanga nga abasinga bali basiraaniraayo era baagala kukomawo.
Bangi ku bannayuganda Namyalo beyasisinka mu masazza ag’enjawulo okuli Sandton, Johannesburg, Rosettenville, Mayfair, Mpumalanga n’amalala bamutuuma ewa Pulezidenti abayamba abakoleere ku mpapula n’okubagulira tiketi ezibakomyawo kubanga bangi bali basiraanira eyo n’abalagira babiteeke mu buwandiike.
Bannayuganda abava e South nga bakomyewo ku kisaawe e Ntebe
Namyalo bweyakomawo n’abitegezza Pulezidenti Museveni n’amulagira addeyo nga August/02 -06/2025 abatwalire entandikwa buli kibiina akiwe omutwalo gwa ddoola [$10,000.] era ebibiina 29 buli kimu yasobola okukiwa omutwalo gwa ddoola okuli
Ekya Sarah Jamil , Sowed Kasim abeera Turffontein, single mothers b’e Sandton, Limpopo women development, women empowerment mu Pretoria abakulemberwa chairlady Mable, women development Centre Kabalaza aba Breanda Kantalama n’abalala
Namyalo Museveni yamulagira akolagane n’ekitebe kyaffe e South Afrika wamu n’omukulembeze wa bannayuganda e South Afrika Moses Badrul Kibombo Ssentongo bakomewo okulaba nga abaagala okukomawo babakoleera ku mpapula.
Bannayuganda abasinga bagambye nti bo tebali mu byabufuzi naye ekikolwa Museveni kyakoze okujjuukira nabo nti bannayuganda n’abasindikira Namyalo okubakoleera ku byokukolawo kabaddi kabonere akalaaga nti bannayuganda bonna abatwala kye nkanyi.
Masitula Namukwaya ategeezezza nti ye yagenda e South Afrika emyaka 10, emabega ng’ava mu Kisenyi we yali afumbira emmere mikwano gye ne bamusuubiza ensi n’eggulu nga otuuse e South Africa.
“Natuukira mu ssaza lya Gauteng kibuga kya mu Pretoria West e South Africa nga nfumba mmere kyokka emyaka ena emabega omwami wange nayegatta ku lukiiko olutwala bannayuganda e South Afrika olukuleberwa ssentebe Moses Kibombo olwo bannayuganda olw’okuba abasinga e South Afrika ba NUP ne bagaana okuddamu okungulako emmere buzinensi yange n’eggwa” Namukwaya bweyategezezza.
Bannayuganda abavudde e South Africa nga batuuse e Ntebe
Yayongeddeko yali asuubula amatooke , ebinyebwa, emigaati ne kalonda omulala okubitwala e South Afrika kyokka byonna byasanaawo olwa bba wange okwegatta ku kakiiko ka Kibombo nga bangamba nti wa NRM aggya kubawa obutwa.
Namukwaya agamba obulamu bwamulemerera n’agenda okutandiika okukola ku ffaamu ya Denis Kiwanuka ey’ebirime abeera mu ssaza lya Mpumalanga ne ntandiika okulima okufunira abaana eky’o kulya Namyalo gye yansanze ne mwesibaako ye nsonga lwaki ndi wano.
“Tebereza omuntu eyaleeka abaana abasattu nga bonna bawala bakulu mu Uganda, ababbiri bali mu S.3, omu mu S.4 kyokka ssente bwezagwawo ne batula kati emyaka ena nga tebasoma kyokka ng’ate babeera maama wange omukadde atakyabasobola kubafuga kwogatta ne bbebi gwe nina” Namukwaya bwe yategezezza.
Nsaba Namyalo atunsize okusiima kwange eri Pulezidenti Museveni nti kituufu anziggye magombe kyokka nsaba nange afunire ku ntandikwa kubanga mpulira PDM, Emyogga naye si byangu kutuukako kyokka nga nze okulima nkusobola olaba mbadde nima South Afrika kati ndi mu bbanga nzira wa maama Wobulenzi mu Luweero.
Teopisita Namukwaya: Maze e South Afrika emyaka etaano gye nagenda okusiiba enviiri naye bwe natuukaayo emirimu ne gimbula era Namyalo okujja kwe e South Afrka yabadde nga malayika okuntusiza omulanga gwange ewa Pulzidenti Museveni nakola ku byokukomawo kwange.
“Ssebo Pulezidenti nze wadde nkomyewo Mu Uganda naye newokubeera sirinawo, nsaba onyambe nfune we nasobola okubeera n’abaana bange” Teopisita bweyategeezza.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta bannayuganda abawangalira mu mawanga ga South Afrika ekya “Confederation Of Ugandans in Southern Africa” [COUSA ] Moses Kibombo Ssentongo yagambye nti Bannayuganda bangi baabadde bakwattira ku bisaawe e South Afrika nga bakomawo ne baabavunaana okugaanira mu nsi yabwe nga VISA zagwako kyokka ne balemera mu ggwanga lyabwe era bannayuganda a basukkka 42, bali mu makomera bakwattirwa ku bisaawe.
Omu kubawadde obujulizi ku byebabadde bayitamu e South Africa
“Museveni kino kyeyakoze ng’ayita mu Hajjat Namyalo nsaba akitwale mu maaso kubanga bannaffe bangi bali eyo embeera yabasobeera dda era wenjogerera abalala 120, bamaze dda okwewandiika nga balindiridde kukomawo ku biragiro bya Pulezidenti Museveni ssaawa yonna singa emisooso ginabeera gimaliriziddwa” Kibombo bweyategezezza.
Kibombo yagambye nti abantu abakomyewo balina endowooza z’ebyobufuzi ez’enjawulo kyokka nga Pulezidenti teyataddemu byabufuzi buli muntu ayagala okukomawo yamugambye wa ddembe era twasoose abakyala abalina abaana n’abo ababadde abetegefu.
“Bannayuganda bangi e South Afrika abanyigirizibwa kubanga eggwanga lyakyusamu mu nkola nti atali munnansi okufuna obujanjabi tekikyali kyangu olaba n’okukomezebwawo ku kisaawe bano nabo baabadde baagala okubakwata kyokka babadde bamaze okufuna ebiwandiko.
Bw’obeera e South Afrika VISA ne ggwako bwe bakukwattira ku kisaawe basooka ne bakusiiba ennaku 120 mu makomera gabwe [Deportation Centres] nga bwebategeka ekiddako.