NNAMUKADDE ow’emyaka 60 agambibwa okufuna obukadde 255 asindikuddwa ku alimanda.
Muzafalu Kasozi omutuuze ku kyalo Kikalala Bbira mu ggombolola y’e Makokoto mu disitulikiti y’e Kassanda ye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ku Buganda Road Ronald Kayizzi eyamusomedde omusango ogw’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Kasozi mu kaguli ka kkooti.
Kigambibwa nti mu mwezi gwa April, 2022 ku bbanka ya Housing Finance mu Kampala, n’ekigendererwa eky’obufere yafuna obukadde 255 mu lukujjukujju okuva ku Ralph Bakashabaruhanga ng’amusuubizza okumuguza ettaka ekitaali kituufu.
Empaaba ya kkooti eraga nti Bakashabaruhanga yali ayagala okugula ettaka n’asalawo okuyita mu bbulooka w’ettaka ayitibwa Muhammad Kamoga eyamulagirira Kasozi eyalina ettaka lye yali atunda nga lisangibwa mu disitulikiti y’e Gomba.
Baasalawo okugenda okulambula ettaka era ne bakkiriziganya okumuguza ku bukadde 255 zokka,yazisasula oluvannyuma yakizuula nti Kasozi ettaka yali yaliguza dda omuntu omulala.
Kasozi yatuuka ekiseera ne yeekweka okuva mu 2022 okutuusa we yakwatiddwa nga August 7, 2025 n’aggulwako ogw’okufuna ssente mu lukujjukujju wabula yagwegaanye.
Omuwabi wa gavimenti mu musango guno, Allan Mucunguzi yategeezezza kkooti nga okunonyereza bwe kuwedde n’asaba omulamuzi okubawaayo obudde okuteekateeka abajulizi mu musango guno.
Omusango omulamuzi Kayizzi yagwongeddeyo okutuusa nga August 27 Kasozi okusaba okweyimirirwa.