POLIISI ekutte omusajja agambibwa okwekobaana ne babbulooka b’ettaka ne batemaatema kitaawe ne bamutta. Bino bibadde ku kyalo Bujubi ekisangibwa mu ggombolola y’e Kyamuliibwa mu Kalungu.
Eyattiddwa ye Benedicto Kasule 68. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Masaka East, Twaha Kasirye yategeezezza nti omulambo gwa Kasule gwasangiddwa mu kitaba ky'omusaayi mu nnyumba gy'abadde asulamu yekka nga baamutemyeko omukono ne gugwa wali, ssaako okumusonseka emisumaali mu matu.
Omugenzi Kasule bw'afaanana.
Ebimu ku byakazuulibwa poliisi biraga nti eggulolimu, mutabani w’omugenzi Tonny Kizza yatuukiridde kitaawe ono n'amusaba amuweeyo ensimbi obukadde busatu.
Bwe yamutegeezezza nti talinaawo ssente, Kizza kwe kumuyingiza mu by’okutunda ku kibanja afune ssente, wabula Muzeeyi Kasule n’agaana.
Ssentebe w'ekyalo kino, Ssaalongo Sserebe Mbagatuzinde yannyonnyodde nti ekiro ekyakeesezza Ssande, Kizza yatuuseeko mu maka ge ng’ali wamu ne babbulooka b’ettaka, okwabadde Deo Lwanga ne Lukenge Sseruyange nga baagala abakolere endagaano y’okutunda ekibanja.
Yabeekengedde kwe kubagamba bakomewo enkeera nga bali ne Kasule kuba baabadde bamugambye nti agenze Masaka mu ddwaaliro, wabula yazzeemu okuwulira nti Kasule asangiddwa mu nnyumba nga yatemuddwa.
Poliisi yategeezezza nti abantu basatu okuli Kizza ne babbulooka Lwanga ne Sseruyange baakwatiddwa nga beeyambisa embwa ya poliisi ekonga olusu era baakuvunaanibwa omusango ogw'okutta omuntu ng'okunoonyereza kuwedde.
Abatuuze okwabadde kkansala Gerald Kiggundu eyaliko, amyuka ssentebe wa disitulikiti eno baalaze okutya ku butemu n'obubbi bwe bagambye nti bucaase nnyo ne bagamba nti wabadde wayise wiiki emu nga baziise omuvubuka era eyatemuddwa ne bamubbako pikipiki n'emmwaanyi.