Akakiiko ka NRM kagobye omusango gw’omujaasi eyakuba abantu mu kulonda

AKAKIIKO akaateekebwawo okuwulira emisango gy’akamyufu k’ekibiina kya NRM, kagobye omusango gw’omujaasi eyawummula Rtd. Col. Moses Buwaso agambibwa okukuba ba agenti be empi n’okunyaga empapula z’okujjuzaamu ebivudde mu kulonda mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka w’ekibuga Iganga ng’alumiriza okumubba akalulu.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKAKIIKO akaateekebwawo okuwulira emisango gy’akamyufu k’ekibiina kya NRM, kagobye omusango gw’omujaasi eyawummula Rtd. Col. Moses Buwaso agambibwa okukuba ba agenti be empi n’okunyaga empapula z’okujjuzaamu ebivudde mu kulonda mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka w’ekibuga Iganga ng’alumiriza okumubba akalulu.

Akalulu kaawangulwa Hajji Swaibu Ojaasi n’obululu 16,310 ate Buwaso n’afuna 1,396. Wabula Buwaso yawaaba mu kakiiko nti okulonda kwalimu emivuyo n’abatali balonzi baakenyigiramu.

Ojaasi musanyufu olw’okumukakasa ku kifo kino era agamba nti Buwaso eyaloopa ate ye yeenyigira mu mivuyo bwe yakuba abantu be