OMULABIRIZI w’Obulabirizi bw’e Mityana, Ssaalongo James Bukomeko agugumbudde Abakristaayo abeesaasira nga Katonda abayise okukola emirimu gye.
Yabyogedde aggulawo ekkanisa ku kyalo Lwamagwa mu Town Council y’e Ntunda mu disitulikiti y’e Kyankwanzi ng’eno yabbuddwaamu St. Mathias.
Omulabirizi era atabukidde abasajja abazaalazaala abaana kyokka ne batabalabirira, wabula bwe bakaddiwa ate ne baagala abaana abo okubafaako ennyo n’asaba abazadde okukolera awamu okukuza abaana.
Ku mukolo guno, Omulabirizi ataddeko abaana 61 emikono.
Ssaabadinkoni w’obussaabadinkoni obutwala ekkanisa eno, Ven. Stephen Damulira yasinzidde wano n’ategeeza nti okuzimbwawo kw’ekkanisa eno kireeseewo enjawulo nnene kubanga abantu b’omu kitundu kino babadde balowooleza nnyo mu busamize n’amalogo.
Yagambye nti balina essuubi ly’okutandikawo essomero n’eddwaaliro biyambe ku bantu b’omu kitundu kino wabula n’asaba abakulembeze okubakolera amakubo.