Emisinde gya Tuskerlite Mt Rwenzori Marathon giyiiseemu obukadde 100

AKULIRA kampuni y’ebyensimbi ne ‘yinsuwa’ akoowodde bannauganda okwongera omutindo mu bintu bye bakola kiteekewo enkyukakyuka ey’olubeerera eganyula abantu abangi n’emigigi egyenjawulo.

Emisinde gya Tuskerlite Mt Rwenzori Marathon giyiiseemu obukadde 100
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKULIRA kampuni y’ebyensimbi ne ‘yinsuwa’ akoowodde bannauganda okwongera omutindo mu bintu bye bakola kiteekewo enkyukakyuka ey’olubeerera eganyula abantu abangi n’emigigi egyenjawulo.

Allan Mafabi akulira Britam bwe yabadde awaayo obukadde 100 okuvujjirira emisinde gya Tuskerlite Mt Rwenzori Marathon, yategezezza nti waliwo ebintu ebikolebwa nga birabibwa nti bitono wabula nga bikyusa eggwanga  n’abantu mu ngeri y’okuganyulwamu.

Mafabi agamba bawagidde emisinde kubanga gikola kyamaanyi okusikiriza abalambuzi, okwongera ku byenfuna by’eggwanga n’ebyabantu abo abakolera mu bitundu by’e Kasese emisinde  gye gyategekeddwa.

Kino era kyakwongera okutumbula eby’obulamu by’abantu bangi mu kitundu n’embeera y’obutonde okukuumibwa ng’emu ku kigendererwa ky’emisinde nga abateesiteesi bakola ebyo ebigendereddwaamu okukuuma embeera y’obutonde.

Mafabi mu nteekateeka eno yategeezezza nti balina ekiruubirirwa eky’okusimba emiti obukadde 60 ng’engeri ey’okukuumamu obutonde bwensi kye basalawo okukola mu kitundu kino.

Collin Masiga omu ku bateesiteesi yagambye ekiruubirirwa kyakuwandiisa abaddusi 6,000 nga mu kiseera kino balina abaddusi 2,500 okuva mu nsi ezenjawulo.

Emisinde gyakuddukibwa e Kasese nga August 23, 2025 ng’ebimu ku bigendererwa by’emisinde gino kutumbula eby’obulambuzi by’eggwanga, okukuuma obutonde, okusitula ebyenfuna mu bantu abawangaalira mu bitundu bino n’okuzuula ebitono ebyenjawulo naddala mu kudduka.