Poliisi erabudde abazadde abalagajjalira abaana mu luwummula

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituma alabudde abazadde okufaayo ennyo ku baana mu biseera by'oluwummula

Rusoke ng'ayogera mu lukung'aana lw'abannawulire
By Sulaiman Mutebi
Journalists @New Vision

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituma alabudde abazadde okufaayo ennyo ku baana mu biseera by'oluwummula .

Agamba nti obumenyi bw'amateeka ku baana bweyongera nyo mu biseera by'oluwumula. Agamba nti ebiseera ebisinga abalina okukuuma abaana ate bebabatusako ogwa bulisa maanyi.

 Akubirizza abantu obutakozesa baana mirimu gitasanidde omuli okukola mu galagi, okusima ebinya n'okupoota. Agamba nti abaana bwebamala okubazako emisango abazadde baagala nyo okutegeragana n'abamenyi bw'amateeka.

Rusoke alabudde abazadde obutamenya mateeka. Rusoke alabudde abasomesa obutakwata baana kubalemeza ku somero singa babeera tebamazeyo bisale bya ssomero.

Asabye abazadde n'abaana okukolagana ne Poliisi okulaba nga balwanyisa obumenyi bw'amateeka mu bitundu mwebabeera.

Rusoke alabudde abawagizi b'omupiira abagenda okugenda e Namboole okuwagira omupiira wakati wa Uganda ne South African olwegulo lwa leero. Kigambibwa nti Poliisi ekutte abantu abateberezebwa okubeera abagingirira tikiti. Rusoke agamba abakungu ba FUFA basimye abawagizi b'omupiira mu Uganda olw'okweyisa obulungi. Asabye abawagizi obutajja n'ammotoka n'obutagua n'abintu bingi.