Ogwa kitende ne St Joseph e Kenya guyiisee

Omupiira wakati wa Kitende ne St. Joseph Kitale eya Kenya gwayiise oluvannyuma lw'abawagizi okukuba omuwuubi wakatambaala nga bamulanga okuwanika ekiwero nga tiimu yaabwe egenda okuteeba.

Kitende ne St Joseph nga battunka
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision
Kitende 2-1 St. Joseph Kitale (KE) tegwawedde.
 
Buddo 1-0 Kizuka (TZ)
 
Bukedea 0-0 Agai SS (KE)
 
Amus 2-0 Highway (KE)
 
Okubaka
St.Mary’s Kitende 80-12 Kaya Tiwi (KE)
 
St. Noa Girls SS 43-46 Buddo SS
 
Hamdan Islamic 64-29 Bugogwa Sec (TZ)
 
Volleyball (Balenzi)
Bukedea Comprehensive 3-0 Tumbi SS (TZ)
 
St. Philippe Nelly (RWA) 3-2 St. Jerome SS 
 
Standard High Zana 3-1 Malava HS (KE)
 
(Bawala)
Kajujumele SS (TZ) 1-3 Katikamu SDA 
 
ESB Kamonyi (RWA) 3-1 Amus College
 
Bukedea Comprehensive 0-3 Kesogon (KE)
 
Enkya Mupiira
 
Butere Boys (KE) - Amus College
Benjamin Mkapa (TZ) - Bukedea Comprehensive 
 
Omupiira wakati wa Kitende ne St. Joseph Kitale eya Kenya gwayiise oluvannyuma lw'abawagizi okukuba omuwuubi wakatambaala nga bamulanga okuwanika ekiwero nga tiimu yaabwe egenda okuteeba.
 
Abawagizi abaabadde bakwatiridde baakutte omuwuubi wakatambaala nebamulemesa okukawanika nga tiimu yaabwe ekoze olulumba ekyawalirizza diifiri okuva mu ggwanga lya Rwanda okuyimiriza omuzannyo mu dakiika eye 75.
Kino kyagyidde mu kiseera nga abategesi bafunye ekisobyo wabweru wentabwe kyebaabadde basuubira okufuniramu goolo eyekyenkanyi.
 
Omupiira guno ogwabaddeko nobugombe gwegumu ku gyabadde gisalawo ani ayita mu kibinja ne Bukedea era nga abategesi baabadde bagwetaaga nnyo.
 
Kitende yakulembedde omuzannyo mu dakiika eya 22 oluvannyuma lwa Muyizzi tasubwa Arafat Nkoola okubakuba omutwe ogwasirisizza ekisaawe.
 
Wabula ekitundu ekyokubiri nga kyakaddamu omukwasi wa goolo ya Kitende yakoze ensobi omwavudde goolo eyekyenkanyi.
 
Mu dakiika eya 59 Dennis Kisiriko yafunidde kitende goolo eyokubiri era wano abawagizi webaatandikidde okuva mu mbeera nga bawakanya buli kimu diifiri kyasala nga tekiri ku ludda lwabwe.
 
Embeera yeemu yeeyolekedde mu mupiira wakati wa Bukedea ne Agai SS eya Kenya ogwagweeredde mu maliri aga 0-0. Guno nagwo olwawedde diifiri nabawuubi bobutambaala abebyokwerinda beebabawonyezza abawagizi abaabadde beesomye okubagajambula.
 
Abamu ku baagusambako ku tiimu yeggwanga lya Kenya abaalabye omupiira baavumiridde ebikolwa ebyefujjo abawagizi lyebaakoze ku tiimu za Uganda. Abakungu bamassomero ga Uganda awatali kwesalamu beeweze obutaddamu kuzannya tiimu yabategesi yonna nga tebalina bukuumi.
 
Amus college yafunye obuwanguzi bwabwe obwasoose mu kibinja oluvannyuma lwokukuba Highway eya Kenya goolo 2-0.
 
Obuwanguzi buno bwabakomezzawo mu kibalo kyokuyitamu singa bawangula emizannyo gyabwe egisigaddeyo.
 
Mu muzannyo gwokubaka Kitende ne Buddo zikulembedde ebibinja byezirimu nga gonna ziwangudde emizannyo gyazo esatu egyebibinja. 
 
Ebibinja byokubaka nabyo biri bibiri okufanaganako nomipiira era ababiri bano buli omu alwana kukulembera kibinja aleme kusanga munne mu luzannya oluddirira olwakamalirizo.