Batenderezza omukululo Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi gwalese

OBUGANDA ne Klezia bitenderezza omukululo gw'obwetowaaze n'obumu Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi by'abadde nabyo eyfiiridde ku myka 96.

Kaggo nga bwabadde afaanana
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
OBUGANDA ne Klezia bitenderezza omukululo gw'obwetowaaze n'obumu Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi by'abadde nabyo eyfiiridde ku myka 96.
Okusabira Kaggo

Okusabira Kaggo

 
Bino bibadde mu mmisa y'okusabira omwoyo gw'omugenzi ku St Kizito Bwaise nga misa ekulembeddwaamu Msgr Johnbaptist Sebayigga. 
 
Msgnr Ssebayiga ayogedde ku mugenzi nga yoomu ku bantu abewaayo  ne bazimba klezia ya St.kizito saako amasiro ga kalaala e kazo.
Abakungubazi mu kusabira Kaggo

Abakungubazi mu kusabira Kaggo

 
Ye katikiiro eyawumula owek.Mulwanyamuli Ssemwogerere atenderezza omugenzi nga abadde ekyokulabirako naddala eri abaami ba Kabaka mu buwereza obwenjawulo awatali kwekwaasa nsonga yonna.
 
Wano omubaka wa wakiso Betty Naluyima wasinzidde n'asaba bannabyabufuzi okutwala ekyokulabirako kyo mugenzi okubeera nga bayimirira ku mazima awatali kwekiriranya.