Ham aweereddwa obuyinza okutereeza omwala gwa Nakivubo

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham, aweereddwa omwala gwa Nakivubo omunene agukulaakulanye n’agukuba ekibaati okuva ewa Kisekka, okuyita ku ppaaka empya, Owino n’atuuka ku kitebe ekizikiriza omuliro.

Hamis kiggundu ku kkono ate ku ddyo gw'emwala ogugenda okuzimbibwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham, aweereddwa omwala gwa Nakivubo omunene agukulaakulanye n’agukuba ekibaati okuva ewa Kisekka, okuyita ku ppaaka empya, Owino n’atuuka ku kitebe ekizikiriza omuliro.
Omwala guno guwerako obuwanvu bwa kiromita mwenda, wabula Ham agenda kusooka
kuzimba mu kiromita ssatu era  w’akubye ebbaati.

Olukomera  w’ebbaati lutandikidde ku kitebe kya poliisi ezikiriza omuliro okuyita emabega wa Container Village ne mu maaso g’akatale ka St. Balikuddembe (Owino), ne kyeyongerayo okuyita ku bizimbe bye (Ham Shopping Ground) okugendera ddala ku ppaaka ya ttakisi empya n’emabega w’akatale ka Kisekka. Ebbaati lyakubiddwa kiro ekyakeesezza ku Ssande.
Ham okukuba ekibaati kiddiridde olukiiko lwa KCCA olwatuula nga April 3, 2025 ne luyisa ekiteeso ekikkiriza abagagga ba musigansimbi bannansi okukkirizibwa okuzimba ku myala bagitereeze n’okugikulaakulanya kisobole okulabisa obulungi Kampala.
EKITEESO EKYAWA HAM OMWALA GUNO
Ekiteeso kino baagenda okukiyisa ng’omugagga Hamis Kiggundu yataddeyo dda okusaba kwe bamukkirize okukulaakulanya omwala gwa Nakivubo omunene ng’aguzimbako amaduuka ng’amazzi gayita wansi. Ekiteeso ekyakkiriza okuzimba ku myala kyayisibwa ku ‘minute number’ KCCA /13/68/2024 /2025. Kanso yakubirizibwa sipiika wa KCCA yennyini, Zaharah Maala Luyirika.

Mu lukiiko olwayisa ekiteeso kino, bakansala baatabuka ne Loodi Mmeeya eyagezaako okubawabula era yabanjulira ebiteeso 15 ku nkulaakulana y’ekibuga byonna ne  babimugobesa emyala ne basalawo abagyagala bagibawe bagizimbeko.

MINISITA WA KAMPALA ALAZE KCCA KWE YASINZIDDE OKUWAAYO
OMWALA
Minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye yagambye nti, ekikoleddwa Hamis Kiggundu kiri mu mateeka kuba KCCA ye yamuwa
 olukusa olukulaakulanya omwala ogwo. “Bw’aba yatandise okuzimba, atuwonyezza
kuba KCCA tubadde tunoonya ensimbi obuwumbi obusoba mu 40 okugutereeza
naye Ham atuwonyezza era Bannakampala mumuwagire ayanguye okuzimba,” Kyofatogabye bwe yagambye.
Yategeezezza nti, Ham ky’agenda okukola kireeta nkulaakulana ya kibuga ate ne ku ludda lw’emizannyo kiyambye eggwanga kubanga ekibiina ekifuga emizannyo ku lukalu lwa Afrika (CAF) kyamulagira akole ku myala gyonna egiriraanye ekisaawe
gitambuze bulungi amazzi naye KCCA ebadde terina ssente kukola mu budde. Yalabudde abaagala okusimbira ekkuuli Ham Kiggundu ku pulojekiti eyo naddala abagamba nti, babadde bakolera ku mwala nti, abo tebalina buyinza bwonna kwogera ku pulojekiti eyo.
Yasiimye olukiiko lwa KCCA olukubirizibwa Zaharah Luyirika olwakkiriza Hamis
Kiggundu okuweebwa omwala gwa Nakivubo nti, lwakola kya ttendo.
HAM ALAZE OMWALA BWE GUGENDA OKUKYUSA KAMPALA
Ham yategeezezza Bukedde nti, Bannakampala ne Bannayuganda
bajja kumusiima nga bukedde, kubanga pulaani gy’alina ku mwala agenda kukyusa
endabika y’ekifo.
Yagambye nti, omwala agenda kugukulaakulanya okufaananako ng’ensi endala n’agamba nti, pulaani ze ku mwala guno z’ayise mu mitendera ne mu mateeka.
Yawagiddwa Ssentebe wa Muzaana zooni, Saad Lukwago eyagambye nti, omwala gubadde gwafuuka mpuku y’abamenyi b’amateeka okwekwekamu. “Eno y’ebadde ensibuko y’obucaafu mu Kampala. Embwa n’ekkapa ebittibwa ng’abantu babisuula omwo ne  bikola ekivundu kyokka nga guli wakati mu mirimu gy’abantu,” Saad Lukwago bwe yagambye.
LOODI MMEEYA LUKWAGO ABIGAANYI,  Kyokka Loodi Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago yawakanyizza byonna ebikolebwa mu kifo ekyo n’agamba nti, obwo bumenyi bw’amateeka kubanga tewali akkirizibwa kuzimba ku mwala era olukiiko lwa
KCCA olwayisa ekiteeso ky’omwala nga lukubirizibwa Sipiika Zaharah
Luyirika yaluwakanya naye aba NUP abasingamu obungi nga tebawuliriza.