OMUYIMA w’ekibiina kya KACITA, Godfrey Kirumira atabukidde abadde ssentebe Thadeus Musoke Nagenda olw’okwefuula ku ndagaano gye yataddeko omukono ng’akkiriza nti Hajji Issa Ssekitto ye ssentebe omuggya.
Kiddiridde Kirumira okutuuza olukiiko olwetabiddwaamu enjuyi zombi, Nagenda n’akkiriza okugenda mu byobufuzi, ensonga za KACITA ziddukanyizibwe Sekitto nga ssentebe wa omupya, kyokka ate oluvannyuma ne yeefuula.
Kirumira yagambye nti baakoze ekiwandiiko ekya wamu nga batabagana n’okudding’ana wakati mu lukiiko Kirumira nnannyini kizimbe kya Royal Complex kwe baakola ofiisi zaabwe.
Bammemba ba boodi bonna okuli; Livingstone Zziwa, Godfrey Kalema, Dr. John senkumba, Betty Mbaziira, Prossy Musoke, Issa Ssekitto, Thadeus Musoke, Hope Katwine, Timothy Baguma, Jemba Mulondo, Simeo Mbuga, Rajab Bukenya, David Kulabako, Abel Mwesigwa,, Eddie Mugisha ne munnamateeka w’ekibiina Joseph Ssevvume baabaddewo.
Kirumira yagambye nti bamaze emyaka egisoba mu 20 nga bakolera abasuubuzi era nga bonna bali bumu tayagala kulaba nga bayuzaamu ekibiina. Bakkiriziganyizza Ssekitto gira akola nga ssentebe nga bwe bategeka okulonda ate bonna bawagire Thadeus Musoke gy’agenze mu byobufuzi asobole okukola obulungi n’okugaziwa. Yakambuwalidde Musoke nti akimanyi bulungi KACITA tetabiikiriza byabufuzi mu nsonga za busuubuzi ate ye by’ayagala era baamukiriza agende mu byobufuzi bye.
Yalabudde nti takkirizibwa kweremeza mu ofiisi linnya lye kwonooneka mu bantu.