Trump ayagala Putin n’owa Ukraine basisinkane

TRUMP ayongedde sipiidi mu by’okukomekkereza olutalo lwa Russia ne Ukraine ng’olumaze okusisinkana Pulezidenti w’eggwanga eryo (Russia) n’alaga bw’ayagala okuddamu asisinkane Putin ku Lwokutaano olujja.

Trump (ku ddyo) ng’akunya Zelenskyy.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

TRUMP ayongedde sipiidi mu by’okukomekkereza olutalo lwa Russia ne Ukraine ng’olumaze okusisinkana Pulezidenti w’eggwanga eryo (Russia) n’alaga bw’ayagala okuddamu asisinkane Putin ku Lwokutaano olujja.


Donald Trump Pulezidenti wa America, eggulo yasisinkanye abakulembeze b’amawanga ga Bulaaya abaakulembeddwa Volodymyr Zelenskyy owa Ukraine ne banne okwabadde aba Bungereza, Germany, Bufalansa, Finland n’amawanga amalala agaamuwerekedde.


Abo baagenze kwongera kukakasa Trump nti Vladimir Putin wa Russia bye yamugambye ng’amusisinkanye mu ssaza lya Alaska Olwokutaano oluwedde, byabadde bya ppa, Ukraine terina kuwaayo wadde ffuuti y’ensi yaayo n’emu eri Russia. Putin yasabye Trump, aperereze Ukraine ekkirize okuwaayo ebimu ku bitundu Russia bye  yagiwambako mu lutalo Putin lwe yaduumira mu 2022 olwo naye akkirize okuggyayo amagye ge mu Ukraine.
Ayagala ekitundu kya Luhansk kyonna nga bwe yakiwamba, ekizinga kya Crimea kye yawamba mu 2014, ekitundu ky’essaza lya Donetsk n’obutundutundu ku masaza amalala abiri aganaayamba ekitundu kyonna ky’ayagala kigguke ku liyanja lya Black Sea.

Abakulembeze b’amawanga ga Bulaaya ag’omukago gwa Coalition of the willing ageewaayo okuyamba Ukraine nga bakulemberwa Kier Starmer, Katikkiro wa Bungereza, aasisinkanye mu kibuga Washington ekikulu ekya America, ne bateesa okuyamba Zelenskyy okuteesa ne Trump amukkirizise ebya Putin okutwala ebitundu by’eggwanga lye okusinziira ku mawulire ga Al Jazeera.