Suzan Kushaba ayagala Pulezidenti Museveni asazeemu ebbaluwa ya Ham ey'okukulaakulanya omwala gwa Nakivubo

SUZAN Kushaba eyali nnankulu w’akatale ka ST. Balikudembe er’ayagala eky’omubaka wa palamenti owa Kampala awabudde pulezidenti Museveni okuddamu okwetegereza olukusa lweyawadde omugagga Hamis Kigundu okukulakulanya omwala gwa Nakivubo.  

Eyali ssentebe wa St Balikuddembe S uzan Kushaba ng'ayogera ne bannamawulire
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

SUZAN Kushaba eyali nnankulu w’akatale ka ST. Balikudembe er’ayagala eky’omubaka wa palamenti owa Kampala awabudde pulezidenti Museveni okuddamu okwetegereza olukusa lweyawadde omugagga Hamis Kigundu okukulakulanya omwala gwa Nakivubo.
Kushaba asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Batt Valley mu Kampala, n'asaba pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asazeemu ebbaluwa ekkiriza Ham okukulakulanya omwala asooke addemu yeetegereze ebiri amabega w’okusaba kwa Ham.
Kino kiddiridde pulezidenti Museveni okuvaayo naawa omugagga Hamis Kigundu owa Ham Enterprise olukusa okugenda mu maaso ne pulaani nnamutayiika, gye yaayise ‘Godly plan’ mwagenda okuyita okulakulanya omwala guno okuviira ddala e Wandegeya okutuuka e Luzira.


Kushaba anyonnyodde nti talwanyisa nkulakulana wabula ate ng’omuntu alumirirwa omuntu wa wansi tasobola kusirika ng’alaba waliwo abanyigirizibwa mu mbeera y’okuyita mu kuleeta enkulaakulana.
‘Omwala gubadde gukolebwako abaana ba Ghetto, abali eyo mu 10,000 pulezidenti baabadde yaakawa ssente z’okwekulakulanya, kati bwebasindiikirizibwa nga tebasoose kuweebwa kiseera kwetereeza kigenda kuzza ekibuga ku ddukadduka n’okunyakula ebintu bya bantu kuddemu ng’abavubuka banoonya eky’okulya kubanga webabade bakolera baabagobyeewo’. Bwagambye.
Angamba ng’okuzingiza omwala ttekinabaawo, wabade wateekwa okusooka okubaawo enkola eyitwaamu abantu abakolerawo ne bazooka baweebwayo ekiseera okunoonya webadda sikubazinduukirizabuzinduukiriza nga bwekyakoleddwa.
Alaze okutya nti okusalawo kwa pulezidenti naddala mu kiseera kino eky’akalulu kwandiviirako n’okukosa obuwagizi bwa NRM obungi bwerina mu Kampala nawanjagira pulezident asooke ayimirize olukusa luno.
Ono era asabye ne CDF Gen. Muhoozi Kainerugaba naye okuvaayo okuyingira mu nsonga eno alabe ng’abantu bafuna obwenkanya kubanga amumanyi ng’omusajja atakolagana na kutulugunya bantu.