POLIISI ekutte abasuubuzi abaakedde okwekalakaasa eggulo ku Lwokubiri ne baggala
amaduuka nga bagamba nti si bamativu na ngeri gye babasoloozaamu omusolo.
Okwekalakaasa kuno kwalangiriddwa akola nga ssentebe w’ekibiina kya KACITA, Issa
Sekitto, eyakunze abasuubuzi bonna okukwetabamu, wabula abamu baakwesambye.
Abasuubuzi abaakwatiddwa poliisi baabalumirizza okukola effujjo ku bannaabwe abaasigadde bagguddewo amaduuka gabwe.
Ezimu ku nsonga abasuubuzi kwe beesigamye okwekalakaasa y’ey’omusolo ogupimirwa mu kkiro, emmaali y’abasuubuzi naddala konteyina ezikyalemedde ku ofiisi za URA, okulinnyisibwa kw’emisolo ngam gyateekeddwa ku ndabirwamu,
ensonga y’abagwira abakola obulimu obutonotono wamu n’ey’ebisale bya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) bye bagamba nti biri waggulu. Ekirala gy’emitendera gye bagamba egitategeerekeka egiyitibwamu okukakasa emmaali
y’abasuubuzi.
Akulira ekibiina kya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA), John Kabanda yasabye URA okukola ku nsonga z’abasuubuzi abalina konteyina ezisoba mu 400 ezikyalemedde ku ofiisi zaayo.
Yawagiddwa omwogezi ne Ssaabawandiisi wa FUTA, Moses Lwegaba ne Hussein Kato, abaalaze obulumi abasuubuzi bwe bayitamu omuli obw’emmaali yaabwe eyonoonekera
mu konteyina ng’ate balina amabanja n’okusasula amaduuka mwe bakolera.
Abasuubuzi abateetabye mu kwekalakaasa beebo abakkiririza mu bukulembeze bwa
Thadeus Musoke era yafulumizza ekiwandiiko ng’abasaba obutakwetabamu ng’agamba
ensonga ezibanyiga zikolwako gavumenti okuyita mu makubo g’okuteeseganya.
Ebirala ebyabagaanyi okwetaba mu kwekalakaasa kwe kuba nti KACITA teyatuula na bibiina birala okuli; Uganda National Traders Alliance(UNATA), United Arcades Traders’ and Entrepreneurs’ Association-( UATEA), Kampala Arcades Traders Association (KATA) n’ebirala okulaba nga batambulira wamu ku nsonga eno. Abasuubuzi era bawadde ensonga okuli ey’okubeera ng’abasinga bakolera mmere ya
leero ekyabatiisizza okwekalakaasa nga ebasoose kutegeka.
Baagasseeko nti, ensonga y’omusolo gwa kkiro, ogwa EFRIS n’emmaali egambibwa okubeera ng’ekyalemedde ku URA, byonna Gavumenti yabikozeeko mu bajeti y’omwaka guno.
URA ENNYONNYODDE
Omwogezi wa URA, Robert Kalumba bwe yatuukiriddwa yasabye abasuubuzi abalina ensonga omuli eya konteyina ezikyali ku URA okugenda ku ofiisi zaayo n’empapula zaabwe bazikoleko mu bwangu.
Ensonga y’omusolo wa kkiro yagambye nti yagonjoddwa, gavumenti bwe yagukendeezezza okuva ku bitundu 3.5 okudda ku 2.5.