SSEKIKUBO: Rwashande azzeemu okumumegga

AKAKIIKO ka bannamateeka akassibwawo Pulezidenti Museveni okuwulira emisangoegy’ababbibwa obululu mukamyufu ka NRM kagobye omusango omubaka TheodoreSsekikubo gwe yaloopa Brig. Gen. Rtd. Emmanuel Rwashande ogw’okumubbako obuwanguzi bwe.

SSEKIKUBO: Rwashande azzeemu okumumegga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKAKIIKO ka bannamateeka akassibwawo Pulezidenti Museveni okuwulira emisango
egy’ababbibwa obululu mukamyufu ka NRM kagobye omusango omubaka Theodore
Ssekikubo gwe yaloopa Brig. Gen. Rtd. Emmanuel Rwashande ogw’okumubbako obuwanguzi bwe.
Kyaddirira Rwashande okuwangula Ssekikubo ku kifo ky’omubaka w’e Lwemiyaga mu
disitulikiti y’e Sembabule mu kamyufu k’ekibiina, wabula Ssekikubo n’awakanya obuwanguzi bwe.
Ensala y’akakiiko kano yakwasiddwa omu ku baanoonyeza Rwashande akalulu, Robert
Nasasira era nga yakakasizza nti Rwashande yawangula Ssekikubo n’obululu obusoba mu 10,000 noolwekyo abadde tayinza kuwangula musango guno.
Rwashande mu kwogerako eri bannamawulire yategeezezza nti obuwanguzi buno bwavudde ku banna Lwemiyaga abaamulonda mu bungi era n’alabula Ssekikubo nti ne bw’anaakomawo okumwesimbako ku bwannamunigina era ajja kumuwangula.
Yawadde Ssekikubo amagezi addeyo e Lwemiyaga yeetondere abantu olw’ensobi z’azze
akola mu myaka 25 gy’amaze ng’abakiikirira omuli abamulumiriza okubabbako ettaka.
Akulira bannamateeka ba NRM, Enock Barata asabye abaawaaba emisango gy’okubbibwa bagumiikirize n’agamba tegijja kusukka Lwakutaano luno