SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye Obwakabaka bufiirddwa nnyo Ow'essaza eyali ow'amaanyi mu Tofiri Kivumbi Malokweza eyawereza Obwakabaka ng'omwami w'essaza ly'e Kyadondo.
Bino bibadde mu bubaka bwe obumusomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kuziika Malokweza ku kyalo Ngondati e Lwengo mu Buddu n'ayogera okumwogerako ng'omukulembeze abadde n'Ebitone ebingi omuli buwulize eri Nnamulondo.
Nnamwandu w'omugenzi Malokweza nga bamuwaniridde mu kuziika bba
" Tujjukira bulungi obuwereeza bw'omugenzi obubaddemu ebitone ebingi, ebisuubirwa mu bakulembeze okuli obwetowaaze, obukozi n'obuwulize eri Nnamulondo," Kabaka bwayogedde mu bubaka bwe.
Kabaka era ategeezezza ng'omugenzi mu kiseera weyawerereza ng'Owessaza, yabanga omusingi gw'emirimu abaami kwebatambuliza emirimu na buli Kati.
Mu bigambo bye, Mayiga ayogedde ku mugenzi ng'Omuntu eyakola emirimu gye n'aginoza, egy'Obwakabaka ate n'egya Klezia ate mu buntu n'amwogerako ng'abadde omuyonjo.
" Omugenzi yakola emirimu gye egy'obuntu n'aginoza. Kino kyamuyamba okuyita mu bukadde ng'ali mu mbeera nnungi....Obukadde obw'obwavu owangalira mu ntondo. Katonda abadde yamutonda bulungi ate naye nga muyonjo," Mayiga bwayogedde ku mugenzi.
Omukolo guno gubaddemu Mmisa ng'ekulembeddwamu Omusumba w'e Masaka, Serverus Jjumba ng'ono naye ategezezza nti Omugenzi abadde muzira w'obuwangwa ng'abuyigirizza n'okulambika abalala kuba omuntu atamanyi buwangwa kizibu okumuyigiriza eddiini n'ategeera Katonda.
" Obuwangwa bwonna obutatuggya ku kumanya Katonda, butuufu era bukulu Omuntu atalina buwangwa okumusomesa okwagala Katonda, ositaana. Obuwangwa kitegeeza ekyateekebwawo era okukola ebituletera okumanya Katonda," Bp Jjumba bwayogedde.
Katikkiro ng'awa obubaka bwa Kabaka
Omusumba Jjumba yeebazizza omugenzi olw'okuwagiranga emirimu gya Katonda mu ssaza lino n'agamba nti yamwewunyisanga buli lweyabeeranga ku mirimu gy'obutume wonna, talina lunaku lweyasuubiza kusonda nsimbi zikka wansi wa 2,000,000/-
Abaana b'Omugenzi okuyita mu Irene Lukwago Malokweza batendereza Kitaabwe olw'okubalaga omukwano, eddiini saako n'okubaagaza Obwakabaka bwaabwe era n'amwogerako ng'eyabayigiriza okukola olw'obukozi bwe kuviira ddala mu buto.
Omugenzi Malokweza ng'abadde mutuuze we Kazo-Nabweru mu ssaza Kyadondo, yazaalibwa September 18,1928 era yavudde mu bulamu bwensi nga August 16,2025.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita Joseph Kawuki owa gavumenti ez'ebitundu, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Bannabyabufuzi e Masaka abakulembeddwamu Meeya w'ekibuga Masaka, Florence Namayinja, Abaami b'amasaza okuli Pookino Jude Muleke, Ssebwana Charles Kiberu Kisirizza.
Abaserikale ba Paapa bakoze emikolo egy'enjawulo mu kumusibula ate Obwakabaka okuyita mu bakungu abakulembeddwamu Pookino Muleke baganzise bendera ya Buganda ku keesi ye.