Abooluganda lw'omuwala abadde akuumirwa ku poliisi e Mbale , bamukimye.
Omuwala ono, Hamida Ndagire 34, abadde yaakava mu ggwanga lya Saudi Arabia naye ng'agambibwa okubaako ekikyamu ku mutwe, amaze ennaku nga poliisi y'e Mbale etubidde naye.
Hamida Ndagire 34, y'abadde akuumirwa mu kifo kino, oluvannyuma lw'okutwalibwayo naye nga by'ayogera tebikwatagana nga kiraga nti y'alibaako obuzibu ku bwongo.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategezeezza nti abantu be, bamukimye ne bamutwala oluvannyuma lw'okuwulira amawulire ku Bukedde.