Ekiwayi ky'abayimbi kitongozza kampeyini okuyiggira Museveni akalulu ka 2026

ABAYIMBI abeegattira awamu mu kibiina kya Movement Awooma Combined Artistes Association batongozza enteekateeka ez'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu okulaba ng'addamu okufuga eggwanga lino ne mu kisanja ekiddako.

Ekiwayi ky'abayimbi kitongozza kampeyini okuyiggira Museveni akalulu ka 2026
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Museveni #2026 elections #NRM #Abayimbi

ABAYIMBI abeegattira awamu mu kibiina kya Movement Awooma Combined Artistes Association batongozza enteekateeka ez'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu okulaba ng'addamu okufuga eggwanga lino ne mu kisanja ekiddako.

Kaweefube ono akulembeddwaamu omuyimbi Emmanuel Nsereko amanyiddwa nga Munnamasaka nga asinziira mu lukung'aana lw'abamawulire lwe yatuuzizza ku ofiisi z'ekitebe kya NRM e Kyadondo mu Kampala.

Omuyimbi Emmanuel Nsereko wakati ng'atongoza enteekateka z'abayimbi ez'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu 

Omuyimbi Emmanuel Nsereko wakati ng'atongoza enteekateka z'abayimbi ez'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu 

Nsereko yannyonnyodde nti nga beesigamye ku mulamwa omupya ogwatongozeddwa ekibiina gye buvuddeko ogwa "Tunyweza ebikoleddwa", baakweyambisa  ebitone bye balina eby'okuyimba n'okuzannya katemba okulaba nga bongera okukunga bannansi okuddamu okuteeka obwesige mu Gen. Museveni saako n'okubannyonnyola ebirungi by'akoledde eggwanga .

Enteekateeka eno egenda kuggyibwako akawuuwo mu butongole nga 15 September 2025 nga ku lunaku luno bategese olukung'aana ggagadde ku kisaawe kya Old Kampala olutuumiddwa 'Oluwombo mu birthday ya Pulezidenti' era bakunze abantu baabulijjo okulujjumbira kuba mujja kubaamu n'okubakuba emiziki egisuusuuta Museveni n'ekibiina kya NRM kyonna okutwaliza awamu.

Wabula omuyimbi Irene Kusiima yatendereza nnyo pulezidenti olw'enteekateka engazi okusinga ezitambuliddwaako mu kisanja kino ez'okuggya abantu mu bwavu gamba nga ey'okwekulaakulanya ku miruka eya 'Parish development model '  emyooga n'endala nnyingi bw'atyo n'asaba n'abayimbi naddala abo abayitibwa abayimbi abato okulowoozebwako nga baweebwa ssente mu kibiina kyabwe ez'okwekulaakulanya nabo basobole okukyusa ku bulamu bwabwe obwa bulijjo .