OMULABIRIZI w’e Namirembe, Rt. Rev. Moses Banja, akuutidde abaana 52 b’ataddeko emikono ku kkanisa ya St. Francis e Kyaliwajjala okunywerera ku Katonda asinga ebirala byonna kuba gwe tuyimiriddeko mu mbeera zaffe zonna.
Yabakuutidde okwewala ebikolwa byonna ebitali bya Bwakatonda bwe babeera baagala okugenda mu Bwakabaka bwa Katonda.
Yategeezezza nti, bonna abaateekeddwaako emikono bagenda kukyuka babeere bapya era oyo yenna atagondera Katonda abeera akoze ebyo Katonda by’atayagala.
Ssaabadinkoni Ven. Wasswa Ssentamu okuva mu Bussaabadinkoni bw’e Namugongo yabasabye babeere omuti omulungi kubanga gwe gubala ebibala ebirungi. Yabalabudde nti, omuti omubi gubala bibi era bagutema ate era balibategeerera ku bibala byabwe.
Omusumba Samuel Ssekakoni ow’ekkanisa ya St. Francis e Kyaliwajjala yakuutidde abayima b’abaana bano okutwala obuvunaanyizibwa obubaweereddwa nga babalung’amya mu bulamu bw’omubiri ne mu mwoyo