MMEEYA we Nakawa Paul Mugambe alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo ku bwannamunigina ku kifo kino mu kalulu ka bonna oluvannyuma lw'obutaweebwa kaadi ya kibiina nga alumiriza nti wabaddewo obutali bwenkanya mu kugaba kaadi zino.
Mugambe ategezezza nti tayinza kukkiriza mivuyo egigenda mu maaso mu kibiina kugenda mu maaso nga abantu babasibako abantu bo bebatayagala.
Ategeezezza nga bwebaateekawo ebirina okugobererwa mu kibiina okuweebwa kaadi eno nga mwemuli okutunula mu buwagizi abesimbyewo bwebalina mu bantu kw'ossa n'obumanyi bwebalina ku nsonga z'ekibiina nga kino akakasa bulungi nti ensonga zonna yazirambulula bulungi.
Mmeeya Mugambe ng'ali n'abawagizi be
Ategezezza nti bo tebalina buzibu na kibiina naye ekibiina kisaana kigendere ku nnono zaakyo kwekyazimbirwa nga tebayinza kukkiriza kugenda mu maaso n'omuze gw'okusosola abaana n'ebyana.
Yemulugunyizza ku kakiiko akateekebwawo okugaba kaadi zino nti tekalina abamu ku b'abadde avuganya nabo nga bano ate bebaalina omulimu gw'okugaba kaadi zino ky'agamba nti si kya bwenkanya kubanga nabo babeera balina okweyagaliza.
Yemulugunyizza ne ku muze ogubadde gugenda mu maaso ogw'okusosola mu bannakibiina nga bonna ababadde bamuwagira bammiddwa kaadi z'ekibiina ky'agamba nti kikyamu.
Asabyea abantu okuyimirira naye mu kiseera ki8no kubanga akizudde nga ddala abantu bamulinamu obwesige era n'awera obutabaswaza nga yesimbyewo ku bwannamunigina