Loodi mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago asusnsuddwa olunaku lw'olwaleero okuddamu okuvuganya ku kifo kye kimu.
Omuloodi wano yabadde tannasunsulibwa
Abawagizi ba Lukwago nga bamukwasa ebikola okubatwala mu maaso.
Omuserikale ng'awayaamu ne Loodi mmeeya ssaako n'abo be yazze nabo okumuwerekerako ku kitebe ky'akakiiko
Ono yatuuse ku ofiisi z’akakiiko k'ebyokulonda ku ssaawa 6:00 ng’awerekeddwako banne mu PFF okuli omubaka Ibrahim ssemujju Nganda, Wasswa Biriggwa, amyuka loodi mmeeya Doreen Nyanjura n’abalala.
Omu ku bawagizi ba mmeeya Lukwago ng'atwalibwa abaserikale.
Akulira ebyokulonda mu Kampala, Rashid Hasakya ye yamusunsudde. Okutuuka e Ntinda poliisi yawerekedde Lukwago nga waliwo kabangali eggula ekibbo n’evaako emabega era abawagizi baagaaniddwa okuyingira
Abawagizi ba Lukwago nga bamukolera ekkubo.