CHINA eyongedde okulumya Pulezidenti Trump omutwe bw’eraze ensi ebyokulwanyisa eby’obulabe ennyo, omuli ne mizayiro esobola okusitula bbomu ya nukiriya, n’ekuba wonna mu nsi.
Kino kiyombezza Pulezidenti Trump owa America n’alabula China, Russia, North Korea ne Buyindi okwegendereza bye bakola kubanga America erina obusobozi okubagatta omulengo n’ebawa essomo ssemasomo! Trump ng’ayita ku mukutu gwa Truth Social yagambye nti China, Russia, North Korea ne Buyindi kye baakoze baabadde beekobaana kulwanyisa America kyokka naye tatidde kubanga America y’esinga ebyokulwanyisa eby’amaanyi mu nsi yonna.
CHINA ERAZE AMAANYI
Ebyokulwanyisa bino byatongozeddw Pulezidenti wa China Xi Jinping, ku mukolo ogw’okujjukira emyaka 80 nga China ne mikwano gyayo bawangudde ssematalo
ow’okubiri.
Omukolo gwetabiddwaako ba Pulezidenti abasoba mu 20 okwetooloola ensi, omwabadde Vladimir Putin owa Russia, Kim Jong Un owa North Korea, Narendra Damodardas Modi owa Buiyindi n’abalala.
Pulezidenti wa China, Jinping ebyokulwanyisa bye yabirambudde wamu ne Putin ne Kim, era baasigadde banyeenya mutwe olw’engeri China gy’esajjakudde mu byokulwanyisa mu ngeri ey’amangu.
EBIKWATA KU MIZAYIRO DF- 5C INTERCONTINENTAL BALLISTIC MISSILE
China yalaze ebyokulwanyisa eby’omutawaana ennyo, ebisobola okukanyuga bbomu za nukiriya okusinziira mu bbanga, ku ttaka ne ku mazzi. Muno mwe muli mizayiro eya Dongfeng 5C Intercontinental Ballsitic Missile (ICBM) emanyiddwa nga DF-5C, ng’eno esobola okutambuza bbomu ya nukiriya paka mu buli kanyomero ka nsi. Mizayiro zino ekika kya Dongfeng, China yalaze ebika eby’enjawulo omuli DF-61 ne DF-31 nga nazo zisitula bbomu ya nukiriya ne zigikuba mu buli kanyomero ka nsi. Zino bazikuba basinziira ku ttaka. Waliwo ne mizayiro endala ekika kya JingLei-1, ng’eno etambuzibwa ennyonyi ennwaanyi, era ennyonyi esobola okugikanyuga ng’esinziira mu bbanga, n’ekuba enfo China gy’eyagala. Eno nayo esitula bbomu za nukiriya. Mizayiro endala y’eya JuLang-3 emanyiddwa nga JL-3, ng’eno etambuzibwa lubbira wansi mu mazzi, era nga lubbira esobola okugikanyuga ng’esinziira mu mazzi, n’egenda ekuba enfo yonna China gy’eyagala. Abatunuulizi b’ebyobufuzi ’ebyokulwanyisa mu nsi yonna, bagamba nti China eyongedde okwenyweza singa olutalo lubalukawo, nga singa ogiremesa okukozesa mizayiro ez’okuttaka, esobola okuyita mu bbanga oba mu mazzi n’esigala ng’ekutuusaako obulabe bwe bumu.
Jinping era yalaze mizayiro eza tekinologiya aliko, ekika kya Hypersonic, nga zino zirina tekinologiya owa Stealth, nga zisobola okuyita ku buli tekinologiya akwata mizayiro nga zikyali mu bbanga, kubanga zidduka nnyo, nga ebyuma we bitegeerera nti waliwo mizayiro esindikiddwa, ebeera emaze okukuba enfo we bagisindise.
Mu zino mwabaddemu DF-17 ne DF-26D, ng’eno esaanyaawo maato n’emmeeri ennwaanyi. Kuno kw’ogatta mizayiro eya YJ- 21, nga nayo esaanyaawo amaato n’emmeeri ennwaanyi, era ekoleddwa okusobola okuyamba China okusaanyaawo eggye ly’omulabe ery’oku mazzi singa ebeera erumbiddwa.
EBYOKULWANYISA EBIRALA
Mu bbanga, China yasabuukuludde ennyonyi ennwanyi eya H-6N Strategic Bomber, ng’eno yasooka kukolebwa Russia, kyokka China yagirongoosezza n’egiteekaamu tekinologiya omupya, agisobozesa okwetikka bbomu ya nukiriya, ate ng’etambulira ku misinde emiyitirivu.
Okumanya China yakaaye, yatongozza n’ennyonyi ennwaanyi zeevuga zokka eziriko tekinologiyam ow’ekikugu ennyo. Ennyonyi zino eziyitibwa GJ-11 “Loyal Wingman” zisobola okutambulira awamu n’ennyonyi ezivugibwa abajaasi, ne zigenda wamu ku
misoni, okusobola okuziragirira obulungi enfo z’okukuba.
Era yatongozza n’ennyonyi ennwaanyi okuli J-15T ne J-35 erina tekinologiya wa Stealth, agiyamba okutambula olugendo n’etuuka okukuba enfo ng’omulabe tategedde. Mu byokulwanyisa eby’oku mazzi, China yasabuukuludde ‘drone’ ezeevuga zokka nga zitambulira mu mazzi, ezaatuumiddwa AJX002, nga zino obusobozi bwazo n’ebizikwatako tebinnaba kuvaayo nnyo, kyokka nga kirowoozebwa nti nazo zisobola okusitula bbomu za nukiriya. China era yayolesezza tekinologiya owa ‘Laser’ ng’ono ayamba okusaanyaawo ennyonyi ennwaanyi ezeevuga zokka, eziba zisindikiddwa omulabe. Era mmundu zino zisobola okusaanyaawo mizayiro eziba zisindikiddwa,
kwossa ‘Satelite’ eziyamba omulabe okuketta ebiba bigenda mu maaso mu China. Ttanka ennwaanyi eza tekinologiya ow’omulembe azikuuma obutasaanyizibwawo
mulabe mu bwangu nga ziri mu lutalo, nazo zaalagiddwa eri ensi, okuli eya 99B ne Type 100 eza tekinologiya aliko kati, asobola okulwana mu nnwaana ey’omulembe guno.
KIM ALAZE OMUSIKA WE
Pulezidenti wa North Korea omukambwe Kim Jong Un, ku mukologuno yatambudde ne muwala we, Kim Ju Ae, alowoozebwa okuba nga gw’ateekateeka okumusikira
singa abeera avudde mu bukulembeze. Omuwala ono ennaku zino Kim gw’atambula naye ku mikolo egy’amaanyi mu ggwanga n’ebweru waayo, era okusinziira ku mukutu gwa BBC, ye mwana wa Kim yekka ensi gw’emanyi naye nga kiteeberezebwa nti alina abaana nga basatu.
Mu North Korea kigambibwa nti omuwala ono baamuwa ekitiibwa ekya “respected daughter”, ekitegeeza muwala wa Kim asinga okussibwamu ekitiibwa. Ne Kim bwe yakakasibwa nti y’agenda okumusikira, baamuteekako
ekitiibwa ekya ‘Respected Comrade’, ekitegeeza munywanyi waffe asinga okussibwamu ekitiibwa.