‘Gavt. ekulembeze abakyala mu kutumbula ebyobuwangwa’

AMBASADA wa Uganda mu kitongole kya UNESCO, Doreen Ruth Amule asabye Gavumenti okwanguyaako okuyisa enkola eneerung’amya ebyobuwangwa kiyambe ku kukuuma n’okutaasa ennono z’abantu.

Amule (owookubiri ku kkono), Ojede (wakati), Daniel Kaweesi (ku ddyo) omumyuka w’akulira ekitongole kya UNESCO addiriddwa Alice Basemera, akulira ekifo ekya Koogere Cultural Foundation e Tooro. Ku kko
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AMBASADA wa Uganda mu kitongole kya UNESCO, Doreen Ruth Amule asabye Gavumenti okwanguyaako okuyisa enkola eneerung’amya ebyobuwangwa kiyambe ku kukuuma n’okutaasa ennono z’abantu.

Amule agamba nti obuwangwa bwa Uganda okwetooloola mu mawanga agasukka 50 kyabugagga era omukisa ebisaanye okweyambisibwa okutumbula enkulaakulana mu bantu kubanga obuwangwa buno bukola ebitundu 7.7 ku buli 100 ku byobulambuzi mu Uganda.

Okwogera bino yasinzidde ku National Theatre mu Kampala ku mwoleso ogusoose ogw’obuwangwa obutakwatibwako ngalo gye buvuddeko. “Nkubiriza abavunaanyizibwa ku kuteekesa ebintu mu nkola okunyweza enkola ezitumbula ebyobuwangwa, okusiga ensimbi mu kukuuma ennono n’obuwangwa era mpita bamusigansimbi okukozesa tekinologiya okukuuma obuwangwa bwaffe,”

Amule bwe yategeezezza. Yasabye era nti ng’okutumbula obuwangwa kukolebwa, abakyala bakulembezebwe mu kaweefube ono ow’okuzuukusa n’okuzza obuggya ennono n’obuwangwa. Francis Peter Ojede ng’akulira ekifo kya National Theatre yateegeezezza ng’enkola y’okutumbula n’okukulaakulanya obuwangwa bw’eri mu kubagibwa, etteeka ku biyiiye nalyo linaatera okuggwa era n’ategeeza bwe bali mu nteekateeka y’okukulaakulanya ekifo kino.

“Ekizimbe kino ekya ‘National Theatre’ si kyakukwatibwako nga bwe bibadde bitambuzibwa ku mitimbagano. Gavumenti era yasalawo nti batandike ebifo ebirala era Gulu, Lira, Mbale, Mbarara ne Fortportal tusuubira bye bijja okusooka oluvannyuma tujja kuzimba muArua, Soroti, Masaka,” Ojede bwe yayogedde.

Akulira ekibiina ekitaba amakaddiyizo  agasangibwa mu bitundu eby’enjawulo ekya Uganda Community
Museum Association, Abraham Kitaulwa, yagambye nti ebifo bino bikoze kinene mu kukuuma obuwangwa n’asaba abantu okwettanira okwagala obuwangwa bwabwe