Bassentebe ba Divisions ne bakkansala basunsuddwa leero

AB'EBYOKULONDA mu disitulikiti ye Wakiso leero basunsudde abaagala ebifo by'okwesimbawo ku bwa ssentebe wa division ne bakkansala mu division ya Busukuma e Nansana

Ab'akakiiko k'ebyokulonda nga kasunsula
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

AB'EBYOKULONDA mu disitulikiti ye Wakiso leero basunsudde abaagala ebifo by'okwesimbawo ku bwa ssentebe wa division ne bakkansala mu division ya Busukuma e Nansana.

Amyuka akulira eby'okulonda e Wakiso, Fosca Twebaze agambye nti baasazeewo okukola ku ggombolola emu buli lunaku olw'ensonga nti abaagala okwesimbawo bangi ate n'ebitundu binene. 

"Leero tukoze ku Busukuma ate ku Mmande tukole ku Nabweru olwo olw'okubiri Nansana. Tusuubira nti ennaku zebaatuwadde zijja kutumala bulungi nga ffe aba Wakiso." Twebaze bweyayongeddeko.

Okusunsula

Okusunsula

Yagambye nti kumutendera gw'eggombolola tebannafunawo buzibu bwamaanyi nga nabo ababadde balina emikono egirimu okusomoozebwa gibadde giterezebwa. 
Abamu ku baasunsuddwa ye Ndausi Sserunkuuma ayagala ekya kkansala wa Kiwenda ward ku Busukuma division, Aidah Namwanje ayagala ekya kkansala omukyala owa Kiwenda ward mu Busukuma division ne Semwanga Muzafaru ayagala eky'abavuvuka e Busukuma.