Emize gy’abavubuka ku biragalalagala gisattiza abakulembeze b’e Mutungo

ABATUUZE b’e Mutungo balaze obweraliikirivu olw’abavubuka abakozesa ebiragalalagala ne bagamba nti byandibaleetera okutabuka emitwe n’okufiirwa obulamu.

Ssentebe w’abavubuka mu muluka gwe Mutungo, Hamis Ssebuuma ng’ayogerako eri bavubuka banne.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE b’e Mutungo balaze obweraliikirivu olw’abavubuka abakozesa ebiragalalagala ne bagamba nti byandibaleetera okutabuka emitwe n’okufiirwa obulamu.
Embeera eno ewalirizza abakulembeze mu kitundu nga bali wamu n’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Kirabo Initiative Community Organisation okuyita olukiiko okwogerako n’abavubuka mu kitundu okuzuula awava obuzibu n’okulaba engeri gye
basobola okunogera ebizibu byabwe eddagala.
Abavubuka baalombozze ennaku gye bayitamu okwebeezaawo omuli n’okubulwa emirimu gye basobola okuggyamu ensimbi nga kino kiwaliriza bamu okutandika okukozesa ebiragalalagala olw’ebirowoozo ebingi ebibaviiriddeko n’okutabuka
obwongo kw’ossa n’abawala okwenyigira mu bwamalaaya ne bafuna mbuto ze bateeyagalidde. Ssentebe w’abavubuka ow’omuluka gw’e Mutungo, Hamis
Ssebuuma yategeezezza nti obuzibu obusinga buva ku bbula ly’emirimu nga kino kireetera abavubuka bangi okusiiba nga bataayaaya olwo ne batandika n’okwenyigira mu mize.
Yategeezezza nti, abavubuka abamu beenyigira mu kunywa enjaga, okulya amayirungi n’okuteega abantu ne babakuba ne bababbako byabwe mu budde bw’ekiro.
Yasabye Gavumenti okuvaayo etuukirire abavubuka bano ebasomese ku kwetandikirawo emirimu.
Ssentebe w’abavubuka mu Luzira, Joshua Ssekiwunga emize yagitadde ku bazadde abamu abalagajjalira abaana nga kino kye kibavaako okulaluka nga bakyali bato n’asaba
abazadde okulondoola abaana baabwe naddala ku mikwano gye  babeera nagyo kuba gikola kinene ku bulamu bwabwe.
Anokoddeyo ebifo nga mu Kisenyi e Luzira, ku mwalo gwa Portbell n’ebifo by’omugotteko nga n’abamu ku bavubuka beefuula abatamidde ekiro olwo ne banyaga abantu ne badduka.
Ssentebe wa Mutungo Zone I,  Agnes Nalweyiso yategeezezza nga effujjo mu bavubuka bwe liva ku kubulwa emirimu era singa kino kinaanogerwa eddagala, obulamu bwabwe bujja kukyuka. Asabye abakulembeze okuvaayo bakolagane bulungi n’abavubuka bano kubanga y’engeri yokka gye bajja okutegeeramu ebibaluma era babinogere eddagala nga bukyali. Atwala ebyokwerinda mu muluka gw’e Mutungo, Isa Tabalo Kavuma ategeezezza nga bwe bafubye okunyweza ebyokwerinda mu kitundu kyokka ng’obuzibu
oluusi buva ku bakulembeze abamu abawolereza abavubuka bano nga bakwatiddwa mu misango.