ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente n'ebisolo ebirala, bakwatiddwa poliisi e Kajjansi.
Abakwatiddwa, kuliko Muzafaru Kiberu 25 ne Jimmy Katto 48 nga mutuuze w'e Kitende. Waliwo ente enzirigavu egambibwa okuba enzibe gye basanze munda mu geeti mu Canana Estate mu Kitende B cell e Kajjansi.
Mu ngeri y'emu era, waliwo amatundubaali agabadde gasaabaanye omusaayi n'obusa bw'ente , agazuuliddwa okuva mu kifo ekyo ne gatwalibwa okuyambako mu kunoonyereza.
Okubakwata, kidiridde okubaako aloopera poliisi nga bwe wabaddewo abatambuliza ente mu mmotoka ya Ipsum ne bagiyingiza mu Canan Estate , gye bazibaagira nti olwo ennyama ne bagissa ku boda boda okugitambuza.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti bayambiddwako ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, okubanyweza