OMWOGEZI w'ekitongole ky'amasannyalaze ekya UEDCL Jonan Kiiza, alabudde bannabyabufuzi okukomya okutimba ebipande byabwe ku waya z'amasannyalaze, ky'ayogeddeko ng'ekyobulabe.
Agambye nti , abamu balina enkola y'okussa ebipande ne bireebetera ku waya z'amasannyalaze , ekiyinza okuvaako waya okukoonagana ne kireeta obubenje ky'agambye nti guba musango.
Mu ngeri y'emu Kiiza, awabudde abantu okwewala okukolera emikolo wansi wa waya z'amasannyalaze amangi nti kuba ebiseera ebimu , kiviirako obulamu bw'abantu okusaanawo n'awa eky'okulabirako eky'abantu ababeera bawanika tenti ne gabakuba.
Mu ngeri y'emu era, asabye abantu okwewala okwenyigira mu kwekalaakasa nga tebalina masannyalaze, nti kuba kitaataaganya emirimu.