ABANTU obukadde Kkumi n'ekitundu , be bakazza obuggya endagamuntu zaabwe ate abalala obukadde bubiri n'ekitundu, be baakewandiisa okuzifuna.
Mu ngeri y'emu era ab'ekitongole kya NIRA , batandiseewo enkola y'okugenda mu malwaliro , okuwandiisa buli mwana abeera azaaliddwa okufuna sitifikeeti ng'omu ku kaweefube w'okwanguyiza obuwereza abantu okumpi.
Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino, Clarie Ollama, alaze obwennyamivu olw'abamu ku bannayuganda , abakyalemeddwa okuzza obuggya endagamuntu zaabwe nti kuba ogwo omuwendo gukyali mutono.
Agasseeko nti bakyatalaaga amawanga ag'ebweru okwongera okuwa Bannayuganda omukisa nabo okwewandiisa , nga muno mulimu America, UK, China, German, Canada n'awalala.